Mwebale nyo

Standard
Mbalamusizza nnyo banange. Kirungi era kisanyusa nnyo olwomuwendo gwemuwaayo okunonyereza ko nokutuusa ku banaffe bangi okutegeera nokwongera okumanya obulungi ebifa ku nyaffe Buganda.
 
Mbakakasa nti okufuba kwamwe si kwabwereere. Mugende mu maaso naffe tujja kuba mabega wamwe  era nokwongerako kye tumanyi anti kamukamu gwemuganda.
 
Ssekabaka Sir edward Muteesa mu kwogerakwe eri eggwanga ku lunaku lwa independence yateegeeza nga bweyali yenyumiririza ennyo mu Jjajawe Mutesa 1 olwebyo byeyayolesebwa nasobola okukolera obuganda ne uganda yonna okutwalira awamu.
Nkakasa nga namwe mwenyumiririza mu ba jjajjamwe benkakasa nga nabo baali bantu ngwanguli anti ekyo kyeragira kumwe okuba nti temuwena.
 
“The prime virtue of life is COURAGE because it makes all other virtues possible” Winston churchill. Obuvumu bwamwe bweyongere bubeere nekubaana bamwe nekubazukulu.
 
Twesiimye nnyo olwa Buganda yaffe! Eriyo abantu abalowooza nti abaganda abeda abaali abazira ennyo tebakyaliwo. Abo tubasaasidde nnyo. Ate mwe mujja kuba bazira nokukirawo anti mukolera mu mbeera nzibu nnyo ate nga mwesudde amabanga naye mukama anaabanga namwe Era oyo gwetusaba bulijjo abakuume. AMIINA.
 
 Ai ensi yaffe twewayo gyoli. Ssabassajja Kabaka awangale.
 
Advertisements

About ekitibwakyabuganda

Ba Ssebo ne ba Nyabo, Twebaza Abaganda bonna abulumulirwa Obuganda . Era twebaza ne mikwano gya Buganda gyonna wonna wegiri munsi yonna. Omukutu guno gwatandikibwawo nga e’kigendererwa kwe kuyigiriza abantu ebintu ebikwatagana no’Buganda era nokuwanyisiganya ebilowozo nebanaffe abatali Baganda. Abaganda ne mikwano gya Buganda mukozese omukisa guno muwereze ebirowozo byamwe no’bubaka bwona obunaagasa Abaganda na’baana Buganda berizala mu maaso eyo. Obumu ku bubaka obuwerezebwa ku mukutu guno bugyibwa mukuwanyisiganya ebirowozo okubera kumukutu gwa Ugandan’s at Heart (UAH) Forum ogwatandikibwawo Mwami Abbey Kibirige Semuwemba. Era twebaza muzukulu wa Kintu ne Nnambi ono olw’omulimu gwakoledde bana Uganda bonna abali e’bunayira mungeri yo kubagatta mu byempuliziganya no’kutumbula okukolaganira awamu.

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out / Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out / Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out / Change )

Google+ photo

You are commenting using your Google+ account. Log Out / Change )

Connecting to %s