The Ganda Clan System

Standard
Ssebo Dr, Jones Josia Kyazze,
Nsanyuse nnyo okusomako ku bye wawandiika ebikwaata ku Bika bya Buganda mu lupapula lwe wateekako omutwe ogwo waggulu. Kinzizaamu nnyo amaanyi ne kimpa essanyu lya kitalo okulaba nga tukyalinawo abantu abamanyi ensonga enkulu nga zino ezitukwatako ng’abantu Mukama be yasindika okuzaalibwa mu Bwakabaka bwa Buganda nga obwo bwe bulambe bwaffe ku mulundi guno gwetulimu wano ku nsensimbe mukasansi (planet earth).
Nsaba nkweyanjulire ssebo mukama wange:
Amannya gange: Bhuka Bijumiro-Jjumiro
Kitange: Muhammadi Kalaagira Mayanja
Obutakabwe: Katiko e Nnaama mu Ggombolola ye Busimbi e Mityana.
Ndi muzzukulu wa Kisubi, mutabani wa Lule Buddeddi mutabaji wa Ssemuwemba, mutabani wa Bawalessanvu mutabani wa Bwangatto eyeddiranga Eng’onge okuva mu ssiga lya Lutaaya e Bbongole eyali mutabani wa Katikkiro Kisolo ku mulembe gwa Ssekabaka Kintu.
Ndi musajja muwandiisi wa bitabo naddala ebikwata ku by’okuyiga bino:
1. Ekkubo lya Basseruggulamiryango ery’Obutangaavu (Obutuukirivu) eryayitibwanga Ekkubo Eddemeezi (Mysticism).
2. Ebyobuwangwa obw’ensi yonna (World Culture and Traditions).
3. Ensibuko y’Abantu, Obuwangwa bwabwe, Enzikiriza zaabwe n’emirimu gyabwe mu bulamu obukusike (Esoteric Cultural Anthropology/ Enthnology)
4. Ebyafaayo by’Abatuukirivu ab’Ensi Yonna (World Spiritual History).
5. Amagezi Amakusike aga Ssitirizi (Esoteric Psychology).
6. Okuzuula, okujjanjaba n’okuziyiza endwadde z’Abaana ezitali za kungulu (Metapediatrics)
7. Engeraageranya Y’Amadiini (Comparative Religion)
Kye nsaba ssebo, nnandyagadde nnyo okukolagana naawe n’abakugu abalala bomanyi naddala ku nsonga ezikwaata ku nsi yattu Buganda ne Uganda n’okukulaakulana kwayo mu makowe egatali gamu. Mpandiise ebitabo bingi mu Luyunganda n’Olungereza ebikwata ku masomo agatali gamu kw’ago ge ndaze waggulu. Oyinza okunkyalirako ku website yange eno:
www.zenithgoldpublishers.com kw’ojja okusanga ebimu kw’ebyo bye twakafulumya.
Nga kampuni ekyali ento ddala ekizibu kye tukyalina, kwe kubeera nga tetulina ba editors ba bitabo bya Lungereza ate nga tusinze kuwandiika bya Luganda. Nabyo tetunnabifunira basensuzi era nze mpandiika ate ne nsensula ekintu ekizibu ddala okukola obulungi. Mu kiseera kino twayagala tusinge kuwandiika ebitabo bibeerewo bingi birisensulwa oluvannyuma naye nga tufunye omusingi omugumu ogwoleka obugagga mu Luyunganda. Tetunnassa ssira ku bya kusamyassamya (advertising and promotion) oba okutunda ebitabo byaffe, omulaka tukyagutadde ku kukungaanya oba kuwandiika buwandiisi. Bwe tufuna abantu abamala abeesigwa abasobola okusensula, okusamyassamya, n’okutunda, nga tugenda mu maaso ebitabo nga bibuna ensi yonna mu nnimi zonna ezisoboka.
Nga bw’onoolaba ku website yaffe, ebitabo ebisinga bikwata ku kaliisoliiso wa byamwoyo  nga tubisimbulira ddala mu buwangwa bwa Bajjajjaffe Bakalimagezi Abasengejje nga bwe baabiyigirizanga ekiro nga batudde ku kyoto.
Nnaasanyusa nnyo ssebo mukama wange okufuna okuddibwamu okuva gy’oli era n’okukolagana mu nsonga ezikwatagana n’Obuwangwa bwaffe mu makowe agatali gamu.
Omuweerezaawo bulijjo
Bhuka Bijumiro-Jjumiro Msc.D.

About ekitibwakyabuganda

Ba Ssebo ne ba Nyabo, Twebaza Abaganda bonna abulumulirwa Obuganda . Era twebaza ne mikwano gya Buganda gyonna wonna wegiri munsi yonna. Omukutu guno gwatandikibwawo nga e’kigendererwa kwe kuyigiriza abantu ebintu ebikwatagana no’Buganda era nokuwanyisiganya ebilowozo nebanaffe abatali Baganda. Abaganda ne mikwano gya Buganda mukozese omukisa guno muwereze ebirowozo byamwe no’bubaka bwona obunaagasa Abaganda na’baana Buganda berizala mu maaso eyo. Obumu ku bubaka obuwerezebwa ku mukutu guno bugyibwa mukuwanyisiganya ebirowozo okubera kumukutu gwa Ugandan’s at Heart (UAH) Forum ogwatandikibwawo Mwami Abbey Kibirige Semuwemba. Era twebaza muzukulu wa Kintu ne Nnambi ono olw’omulimu gwakoledde bana Uganda bonna abali e’bunayira mungeri yo kubagatta mu byempuliziganya no’kutumbula okukolaganira awamu.

4 responses »

  1. nsiimye nnyo omulimu gwe mukola era mbasaba mugende mu maaso
    Nze ndi muzzukulu wa Mazige mbeera mukono, ndi munnamawulire akolera ku Top Radio/T.V ne Ggwanga News papper. nsiimye nzija kuddamu mpandiike nga nfunye obudde. mukama abakuume.

  2. Muli bamuweendo nyo olw’omulimu gwemukola era mbasabiira mweyongeere mumaaso.
    Nange ndi enno mpandiika katabo kange nga kakwaata ku buwangwa Buganda.

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out / Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out / Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out / Change )

Google+ photo

You are commenting using your Google+ account. Log Out / Change )

Connecting to %s