Baganda in the diaspora support the Kabaka

Standard

Baganda in the diaspora support the Kabaka

We Baganda in the diaspora fully support the Kabaka and his stand regarding Buganda and her relationship with the rest of Ugandan.  In agreement with the Kabaka, we would like to state the following:

(a) We strongly condemn the creation chiefdoms, by the central government within the Kingdom of Buganda.

(b) We confirm that Buganda is an inclusive kingdom that welcomes every Ugandan without fear or discrimination, but will not allow new comers to create ‘entities’ that undermine the cultural and geographical integrity of Buganda Kingdom.

(c) We also emphasize that Buganda’s boarders are well defined in the independence constitution of 1962 and 1995/2005 constitutions. Any attempt to alter these boundaries without our consent is a breach of the constitution and a violation of our rights. Consequently, such violation is likely to push us to ‘Use all means necessary to restore constitutional order.

(d) Furthermore, we remind the authorities in Kampala that all Ugandans including the Kabaka have a right to move freely within Buganda and Uganda and any attempt to restrict such movement is a violation of one’s citizenship rights and therefore a breach of the constitution of the republic of Uganda.

(e) We understand that the Land and Kampala bills are malicious, provocative and aggressive drafts of legislation that must be withdrawn from parliament because they threaten the cultural, social, political and territorial integrity of Buganda. It is possible to administer Kampala to anywhere without annexing Buganda.

(f) We demand that all MP’s and officials in government representing, or from Buganda declare their stand on all historical issues affecting Buganda including ‘Ebyaffe, creation of chiefdoms, Land and Kampala Bills and Federo. It’s time to determine who works or is for us, and who is working against us.

(g) We demand that officials in (NRM / Government) who have not declared their stand on the above issues should NOT attend Buganda functions where the Kabaka is in attendance. In particular, Vice President Gilbert Bukenya, Prime Minister Appolo Nsibambi, House Speaker Edward Ssekandi and Attorney General Kiddu Makubuya should lead the way to declare their stand or stay away from the Kabaka.

(h) We are concerned by Presidential Spokesman Tamale Mirundi’s campaign to incite violence among Baganda Landlords and Tenants. Buganda has a long tradition of co-existing between Landlords and Tenants. Anyone undermining this historical relationship is an enemy of Buganda and Uganda.

(i) We believe that the best way to uplift the standards of people in Buganda and the rest of Uganda is through a Federal system of government. This is the only way through which all Ugandans will enjoy ‘Justice, fairness and truth’.

(j) We also advise that a resolution be passed in the Lukiiko requiring that the anthem ‘Ekitiibwa kya Buganda be sung at every birth, death, and at the beginning and end of any function in Buganda of 8 people or more.

Baganda in the diaspora.

Luganda Version

Obuwagizi n’obuwulize bw’Abaganda eri Kabaka w’e Buganda

Ffe abasajja n’abazaana ba Kabaka, abatuuze mu mawanga agali ebweru wa Buganda, tuwera n’okuggumiza ensonga nga bwe tuli mabega wa Ssabasajja mu nzikiriza Ye nti Buganda erina okukoleganira awamu obulungi n’ebitundu bya Yuganda ebirala. Mu kino nga tuli emabega wa Kabaka waffe, twagala okuggumiza bino wammanga:

(a) Tuvumirira era twekokkola enkola abafuzi aba gavumenti eyawakati gye beegumbulidde n’okwettanira mu nsangi zino ey’okutondawo obwami obutabangawo mu byafaayo by’ensi yaffe kasookedde etondebwawo.

(b) Tukiggumiza nti Obwakabaka bw’e Buganda gye bufa bwenkana bubadde bwaniiriza buli muntu ow’eggwanga lyonna asiima okubusenga awatali kumusosola. Obwakabaka bw’e Buganda buzze nga bulera abantu ab’amawanga ag’enjawulo mangi nnyo awatali kwekengera n’omu nti lulikya omuntu oyo n’abusekeeterera. N’olwekyo Buganda tegenda kukkiriza muntu n’omulundi n’ogumu okugisekeeterera n’okukolerera okusaanyizibwawo kwayo ng’omuntu oyo ayita mu kuseeseetula ensalo zaayo ezaluηηamizibwa mu lukiiko lw’e Lancaster nga twetegekera ameefuga mu 1962 era ne zikkaatirizibwa ne mu Ntegeka ey’eby’obufuzi eya Uganda eya 1995 ne 2005. Milton Obote yagezaako okukola ekintu kye kimu mu 1968 era n’alemwa.

(c) Tukiggumiza nti mu kuseeseetula ensalo za Buganda ezaluηηamizibwa ku meefuga mu 1962 era ne zikkaatirizibwa ne mu Ntegeka ey’eby’obufuzi eya Uganda eya 1995 ne 2005, singa Buganda ebeera temaze kwebuuzibwako era n’ekkiriza, kino kiba kutyoboola eddembe lyaffe ery’obwebange ng’Abaganda era n’okumenya Entegeka ey’eby’obufuzi Uganda kati kwetambulira. Ekikolwa ekyo kyandiviirako Obwakabaka bw’e Buganda okulandulula ku bigere bukwate amakubo amalala agayinza okuzza nate obufuzi obulambulukufu obutambulira ku Ntegeka ey’eby’obufuzi eyaluηηamizibwa bannansi.

(d) Katusabe okujjukiza abo abali mu buyinza e Kampala nti nno, buli Munnayuganda, nga ne Ssabasajja Empologoma ya Buganda mwe tumutwalidde, alina eddembe ery’obwebange okwetaayaayiza mu buli kanyomero ka Uganda awatali muntu yenna kumukuba ku mukono. Okutangira Munnayuganda yenna okwetaayaayiza mu Uganda, nga ne Ssabasajja Empologoma ya Buganda mwetumutwalidde, kibeera kulinnyirira eddembe ly’omuntu ery’obwebange era nga kimenya Entegeka y’eby’obufuzi Uganda kati kw’etambulira, bo ppo nga Ssabasajja obutafaananako nga Bannayuganda n’abafuzi ab’ensikirano ab’omu Uganda abalala, alina amateeka amalala agatalambuluddwa mu Ntegeka ey’ebyo’obufuzi eya Uganda eya 2005 gavumenti eyawakati kweyagala afugibwe. Bikiba bwe kityo, ne Buganda kati efune bunnambiro eddembe eriwa olukusa ani alina okutambulira mu Buganda n’okusengamu.

(e) Tumaze okukitegeera nti amateeka agali mu bbago erya Land Bill 2007 erikwata ku by’ettaka, n’erya Kampala Bill 2009 erikwata ku nsalo z’ekibuga Kampala; gaaletebwa mu mwoyo ogujjudde enge n’effutwa ku Bwakabaka bw’e Buganda ng’ekigendererwa kwe kunafuya Obuganda n’ennono yaffe ng’Abaganda. Amateeka gano agakyali mu bbago kigwanidde gaggyibweyo mu lukiiko lw’eggwanga olukulu – Parliament, kubanga singa gayisibwa ne gafuulibwa amateeka amakakase; empisa, ennono n’obumu bwa Buganda bijja kusaanawo. Katusabe nate okujjukiza abo be kikwatako nti okufuga Kampala kisoboka bulungi nga tebasoose kukeccula Buganda obufiififi oba okugimaamira obukoko.

(f) Kati kino ky’ekiseera buli mubaka Omuganda oba yadde atali Muganda kyokka ng’akiikirira ekitundu ekisangibwa mu Buganda ng’ensalo za Buganda bwe ziyimiridde mu Ntegeka ey’eby’obufuzi eya 2005, okuvaayo obuseke ayasanguze ludda ki kw’ayimiridde ku nsonga eziruma Obuganda, naddala ensonga y’Ebyaffe, okupaatiikibwawo kw’obwami obutabangawo mu byafaayo by’ensi yaffe, etteeka ly’Ettaka, etteeka ly’okuseeseetula ensalo z’ekibuga Kampala ekyakubibwa Ssekabaka waffe Muteesa Walugembe Mukaabya n’enfuga eya Federo. Kino ky’ekiseera buli mbuzi okudda ku nkondo yaayo, Omukulu takulira mpya bbiri – endege tezivugira mu mazzi. Tewakyali aga n’aga; obeera mabega wa Ssabasajja, oba obeera ku ludda olumusekeeterera.

(g) N’obuwoombeefu tusaba abo abakungu ba gavumenti eyawakati abatannaba oba abatya okwasanguza luuyi ki lwe baliko ku nsonga za Buganda ezimenyeddwa mu nnyingo ezo waggulu, obuteetantala kwetaba mu mikolo gy’Obwakabaka bw’e Buganda, muddala nga Ssabasajja anaalabikako eri Obuganda. Omuganda agamba nti Ekkubo litemebwa Mukulu, kale nno katutwale omukisa guno okusaba n’obuwoombeefu abakungu era ab’ebitiibwa Omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Prof. Gilbert Bukenya, Ssabaminisita wa Uganda Prof. Apollo Nsibambi, Omukubiriza w’Olukiiko lw’eggwanga Edward Ssekandi ne Ssabawolereza wa gavumenti eyawakati Kiddu Makubuya; okwesimba obwentoogo bakulembere bannaabwe abakakaalukanyi b’ebyobufuzi mu kulangirira wa webayimiridde ku nsonga z’Obwakabaka bw’e Buganda. Awatali kukola ekyo, Obuganda bwonna bujja kukitwala nti abakungu abo batiiriridde Kabaka waffe n’olwekyo kibagwanidde obutaddamu kwetaba mu mikolo egitegekeddwa Obuganda era n’obutaddamu kukiika Embuga.

(h) Emirundi mingi nnyo kituleetedde ennaku n’ennyiike okulaba n’okuwulira ng’omwana enzaalwa eya Buganda ate nga Muzzukulu wa Mugema, Tamale Mirundi, yeefunyiridde okutabangula Obuganda ng’ayita mu kukuunga abaseenze ku ttaka ly’Abaganda bajeemere bannannyini ttaka. Omukungu oyo takomye ku ekyo kyokka, naye asaakirizza abaseenze okukozesa emikutu egiyiinza okweyambisibwa okuyiwa omusaayi mu kutuukiriza ekigendererwa kyabwe eky’okwefuga ettaka kwe baasenga. Gye bufa bwenkana, mu Buganda omuseenze abadde akolagana bulungi nnyo ne nnannyini ttaka eyamuseenza. Mu byafaayo bya Nnyaffe Buganda tukiwulirwangako nti wabaluseewo oluyombo wakati wa nnannyini ttaka n’omuseenze we. Omuntu yenna eyettanira okuleetawo embeera efaananako bwetyo ye mulabe w’eggwanga asingirayo ddala.

(i) Oluvannyuma olw’okwetegereza ebyo byonna ebizze bibaawo kasookedde tufuna obwetwaze mu 1962, tufunye okumatira nti nno enfuga ey’enkola eya Federo ye yokka eyinza okusitula omutindo gw’abantu baffe abasangibwa mu Buganda wamu ne mu bitundu by’eggwanga lyonna okutwalira awamu. Awatali kutambulira ku nfuga eya Federo, okugamba nti nno buli Munnayuganda anabeera n’eddembe; anaafuna obwenkanya n’okutambulira mu mazima; ekyo kuba kukootakoota muga lumonde.

(j) Tukubira nga tusaba Olukiiko lwa Buganda e Bulange (The Great Lukiiko) okuyisa ekiteeso ekikkiriza oluyimba lwaffe olw’eggwanga Ekitiibwa kya Buganda, okuyimbibwanga Abaganda bwe banaabanga mu bungi obw’abantu munaana n’omusobyo mu Buganda wonna ku mikolo: ogw’okujaguza olw’okuzaalibwa kw’omwana Omuganda azze mu nsi, ogw’okuziika Muzzukulu wa Kintu amaze olutalo lwe ku nsi, n’ogw’embaga y’Omuzzukulu wa Kintu agenda okwaza Obuganda.

Ffe, Abasajja n’Abazaana ba Kabaka abali ebweru wa Nnyaffe Buganda.

‘UAH’ BAGANDA FORUMISTS

Advertisements

About ekitibwakyabuganda

Ba Ssebo ne ba Nyabo, Twebaza Abaganda bonna abulumulirwa Obuganda . Era twebaza ne mikwano gya Buganda gyonna wonna wegiri munsi yonna. Omukutu guno gwatandikibwawo nga e’kigendererwa kwe kuyigiriza abantu ebintu ebikwatagana no’Buganda era nokuwanyisiganya ebilowozo nebanaffe abatali Baganda. Abaganda ne mikwano gya Buganda mukozese omukisa guno muwereze ebirowozo byamwe no’bubaka bwona obunaagasa Abaganda na’baana Buganda berizala mu maaso eyo. Obumu ku bubaka obuwerezebwa ku mukutu guno bugyibwa mukuwanyisiganya ebirowozo okubera kumukutu gwa Ugandan’s at Heart (UAH) Forum ogwatandikibwawo Mwami Abbey Kibirige Semuwemba. Era twebaza muzukulu wa Kintu ne Nnambi ono olw’omulimu gwakoledde bana Uganda bonna abali e’bunayira mungeri yo kubagatta mu byempuliziganya no’kutumbula okukolaganira awamu.

5 responses »

  1. Thank you very much for this Article.We should all stand behind our Kabaka and ignore the intimidations by the Nrm people and their Banyala puppets. No one should tell our Kabaka where he could or couldn’t go in his Kingdom!

  2. Hey, I found your blog while searching on Google your post looks very interesting for me. I will add a backlink and bookmark your site. Keep up the good work! 🙂

  3. What you people did will always haunt you and will never fade. Never forget the fact that HISTORICAL documents and personal entries in diaries reveal the ways in which the Baganda agents subdued and controlled places like Bunyoro, Bugisu, Busoga, etc. in the early 20th Century.

    The methods included forceful teaching of the Luganda language and forcing people to abandon their native names and adopt Kiganda ones.

    This campaign was revealed in memos exchanged in 1933, between colonial agents like Auguste Kibuka, the then British provincial commissioner and Buganda Gombolola chiefs. The memos were also copied to the Katikkiro (premier) of Buganda and other senior officials.

    A memo dated August 18, 1933, read that Luganda was to be used as the medium of instruction in schools in the annexed counties of Buwekula, Buyaga and Bugangaizi. It also instructed the Bishop of Uganda to write to the British Rev. Canon Bowers, who supported the use of Runyoro as a language of instruction in schools, to use Luganda in all Bunyoro schools.

    Another memo written by a Muganda chief known as I. Ndawula read: �Office staff have made it a habit of speaking Runyoro and trying to make it the official language. Warn all people that except English, no language other than Luganda is allowed to be used. Should an employee be found trying to upset work on the pretext that he is a Munyoro, he is to be dismissed.�

    Banyoro were banned from forming associations or committees that met to plot rebellion, on the grounds that they wanted to return to Bunyoro. The collection of money from people in the annexed counties was also forbidden, because it was seen as a means of fundraising for the return to Bunyoro. Those caught collecting money were to be brought to court and charged with obtaining money by false pretence.

    They were also limited in their movement. One memo said Banyoro from Hoima as well as other parts of the kingdom trying to persuade residents of Kibaale, would be arrested immediately.

    Entries in personal diaries of colonial administrators and British commanders show that Bunyoro had underground granaries that could feed its people for years in the event of famine. However, the granaries were systematically destroyed.

    Buganda also organised ebisaakaate campaigns in the annexed territory of Buwekula in Mubende, where Banyoro were brainwashed to denounce their roots and adopted Kiganda names such as Mukiibi, Kasirivu and Kakooza.

    if you walked away scot free then why shouldnt some one else do so.

  4. Shisa

    Today whats happening? You and your people want “to eat and live” like a Muganda . you even dress like a Baganda i.e. many of you.

    Yet…… No body forces you to live in Buganda . so why dont you leave? Its that simple…………

  5. Buganda Ochestra / choirs

    Baganda bange. Ntendereza Katonda nga mwebaza Obuganda.

    Kati nze ngamba nti Buganda erina okufuna Ochestra oba Kabaka ayina okuba ne ochestra.

    Buli kibuga mubuganda kiyiinna okuba ne ochestra.

    Ochestra zibe za ngeri biri

    1. ebivuga ebye kiganda.
    2. ebivuga ebya mawanga amalala.( ebyekizungu, bayindi etc)

    Akuume

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out / Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out / Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out / Change )

Google+ photo

You are commenting using your Google+ account. Log Out / Change )

Connecting to %s