Buganda Mourns Kasubi Tombs on Friday,26th March 2009

Standard

Gano ge mampimpi ku bibadde e Nnabulagala.

Okusaba mu Masiro nga 26/03/2010
Mu bufunze omuwandiisi by’alabye:
7:30 a.m.              Okutandika olugendo ng’omuwandiisi agoberera ekkubo omuyisibwa Bassekabaka nga batwalibwa okugalamizibwa e Nnabulagala. Olukubakuba lutandika okufuuyirira.
8:00 a.m.              Omuwandiisi atuuka ku Masiro, asimba mu nnyiriri.
8:15 a.m.              Nalinnya Sarah Kagere ne bba batuuka mu Masiro
8:35 a.m.              Omuwandiisi ayingira mu Masiro. Olukubakuba lukya.
9:38 a.m.              Omutaka Nakirembeka atuuka mu Masiro
9:50 a.m.              Katikkiro J.B. Walusimbi atuuka mu Masiro. Bakatikkiro abaawummula Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, Mayanja Nkangi ne Dan Muliika nabo balangirirwa nga bwe batuuse mu Masiro.
9:51 a.m.              Supreme Mufti Zubair Kayongo atuuka mu Masiro.
10:10 a.m.           Ssabasumba Cypriano Kizito Lwanga atuuka mu Masiro nga awerekerwako Omusumba Mathias Ssekamanya ow’e Lugazi n’Omusumba Dr. Anthony Zziwa ow’e Kiyinda Mityana.
10:25 a.m.           Omusumba wa Seventh Day Adventist atuuka mu Masiro.
10:30 a.m.           Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II atuuka mu Masiro. Akubirwa emizira egy’amaanyi. Emikolo egikolebwa nga Ssaabasajja atuuse mu Masiro gikolebwa. Agenda okulamusa ku Bannamasole, Abalangira n’Abambejja, Bannaddiini n’Omulangira w’e Nkole, Prince John Barigye.
10:34 a.m.           Oluyimba lwa Buganda Ekitiibwa kya Buganda luyimbibwa. (Olwa Uganda abantu baalugaanyi okuluyimba. Kalabaalaba w’omukolo alangirira nga omukulembeze wa DP, Norbert Mao, n’owa UPC, Olara Otunnu, bwe batalutumidde mwana. Abantu bakubira Norbert Mao emizira kyokka bawogganira waggulu nti Otunnu ne UPC tebabyetaaga.

10:43 a.m.           Kalabaalaba w’omukolo ategeeza Ssabasajja nti musajja we omuyimbi Ronald Mayinja waali nnyo era agenda okumuyimbira oluyimba Landlord. Abantu bakuba emizira era Ronald Mayinja atandika okulya mu ndago. Abantu bonna ekinyegenyege kibakwata era bayimbira wamu ne Mayinja.
10:55 a.m.           Okusaba kutandika nga Chaplain wa Makerere University, Rev. Fr. Lawrence Ssemusu asaba essaala ey’okwegayirira Mukama mu Luganda ne mu Lungereza.
11:00 a.m.           Ssabasumba Cypriano Kizito Lwanga ayigiriza
11:05 a.m.           Sheikh Ssebulime asoma essaala ku lw’Abayisiraamu.
11:10 a.m.           Supreme Mufti Zubair Kayongo ayigiriza. Anokolayo obugambo obugamba nti Katonda yatonda amagye ag’enjawulo. Waliwo ag’omu Ggulu, Ye Kayongo gaatajja kwogerako, ne ag’omunsi. Mu g’omu nsi waliwo aganyoomebwa kyokka nga gadoobya abantu, okugeza nga ensiri. Ensi yonna n’okutuusa ku ssaawa ya leero ekyalwana n’omusujja gw’ensiri. Wano kwe kubuuza nti: omuntu ayinza atya okulowooza nti nno anaasobola okulwanyisa omwoyo ogwagala ekintu ng’Obwakabaka? Obwakabaka bwa Buganda Katonda yabuteekawo ng’ekisiikirize Abaganda mwe bawummulira okusobola okufuna emirembe. Abantu bonna bakuba emizira egy’amaanyi.
11:15 a.m.           Omulabirizi w’e Mityana eyawummula, Dr. Dunstan Bukenya asoma Zabbuli ya Dawudi eya 121.
11:20 a.m.           Omulabirizi w’e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira abuulira. Anokolayo obugambo obugamba nti Mukama eyatonda Buganda n’atuteekamu Abaganda omwoyo ogwo ogwa Buganda ogutafa, y’omu Buganda gw’esaanye okwesiga kubanga Ye Mukama y’omu agenda okugiyimirizaawo okutuusa enkomerero y’ensi lw’erituuka. Abuulira abantu nti nno Mukama amanyi bulungi oyo eyayokerera Amasiro gaffe, kyokka amazima galitufuula ab’eddembe era kyalibadde kirungi mu kiseera kino eky’ekisiibo omuntu oyo eyayokya amasiro okwenenya.
11:27 a.m.           Omusumba w’Abasodokisi Rev. Fr. Stanislaus Kasule asoma ekitundu okuva mu Yokana 1 n’okutandikira ku lunyiriri olw’olubereberye.
11:30 a.m.           Ssabasumba w’Abasodokisi Metropolitan Yonah Lwanga ayigiriza, kyokka abatabuzitabuzi bakutula waya z’emizindaalo ezimu nga beeyamba obusindikagano obw’ekyana ekito era ebigambo bye ebimu tebiwulirwa. Okusaba kuyimiriramu okumala akabanga.
11:34 a.m.           Emizindaalo egimu gizzibwako era Metropolitan Yonah Lwanga amaliriza okuyigiriza kwe.
11:42 a.m.           Ssabasumba Cypriano Lwanga ayitibwa okukomekkereza okusaba era awerekerwako abasumba Mathias Ssekamanya ow’e Lugazi, Paulo Ssemwogerere ow’e Luwero Kasana ne Dr. Anthony Zziwa ow’e Kiyinda Mityana. Mu bugambo bwe obuwuumbawuumba okusaba anokolayo Nabbi Nekkemeya (Nehemiah) eyaliwo emya 585 nga Kristo tannaba kuzaalibwa. Nabbi ono yatunuulira ekibuga Yerusaalemi (Yerushalayim) ekyali kyokeddwa abalabe ba Yisirayiri kyokka n’akumaakuma mu Bayudaaya obutaterebuka. Yeeyamba empagi ttaano ez’okuzzaawo Yerusalemi;
–          Okwegayirira Mukama
–          Obutaterebuka wabula okunywerera ku Katonda waabwe
–          Okusabanga bulijjo
–          Okuddamu okuzimba ekibuga
–          Oku

11:45 a.m.           Ssabasumba Cypriano Lwanga Agaba Omukisa mu linnya lya Patri, ne Mwana ne Mwoyo Omutukirivu.
Kalabaalaba w’omukolo alangirira nga Ssabasajja bw’agenda okwogera eri Obuganda. Abantu bakuba emizira era Kalabaalaba asaba Obuganda bwefuge Bbeene asobole okwogera.  Oluvannyuma lw’akabanga abantu basabibwa okuwa Bannaddiini ekkubo basobole okufuluma Embuga. Kitegeerekeka nti nno Ssabasajja asiimye obutayogera eri Obuganda oluvannyuma lwa Kimese okukitegeerako nti nno abalabe ba Buganda baasindise Abacuba okutabulatabula omukolo era nga be basongeddwamu olunwe ku gw’okudobonkanya emizindaalo n’entimbe (screens) ezaabadde zitegekeddwa ebweru ku Muzigiti okuyamba nnasiisi w’omuntu ataasobodde kuyingira mu Masiro ng’ebifo biweddemu. (Kiteeberezebwa nti abantu abeeyiye e Nnabulagala bakunukkirizza wakati w’obusiriivu omunaana n’akakadde akalamba!)
11:48 a.m.           Kirangirirwa mu butongole abantu bonna okwesumulula amafuvu era n’obutafuluma Masiro n’amafuvu. Okukungubaga kw’Abaganda mu Buganda ne mu nsi yonna kulangiriwa nti kukomye.
11:50 a.m.           Omukolo ogw’okusaba guggalibwawo mu butongole. Abantu abayagala bagenda okubuuza n’okukubagiza ku bazaana ba Bassekabaka abagalamidde e Nnabulagala.
Effujjo mu Masiro
Kyategeerekeseeko nti waliwo abantu abatayagaliza Buganda mirembe n’essanyu abaapangisizza abacuba okusobola okutabulatabula omukolo. Mu bikolwa eby’okutabulatabula omukolo mwe mubadde:
–          Okuleetawo akakyankalano akateetagisa nga abavubuka bano baleekanira abantu ababadde bayimiridde mu maaso ku bukomera obw’ebyuma batuule wansi mbu nabo abali emabega basobole okulaba. Wano tusaanye tukitegeere nti nno tewabadde wakutuula okujjako okutuula mu ttaka so ate ng’olukubakuba lubadde lufuuyiridde! Abavubuka bano bavudde emabega nga bwe bawaguza okutuuka ku kakomera akaabadde katekeddwawo okutuusa abantu ababadde mu maaso bwe beekyaye ne babasegulira, olwo akakyankalano ne kakoma.
–          Okulinnya ku nju ezisangibwa mu Masiro! Obwedda abavubuka bano bagera ekiseera ne baleekanira waggulu. Balinnye n’emiti egisangibwa munda mu Masiro ng’eno bwe banyeenya amatabi kumpi kugawogola!
–          Okukasuka obutebe obw’amasanda (plastic) nga babuggya mu weema eyabadde etuziddwamu bannaddiini nga babukasuka emabega kimugunyu.
–          Okukasuka amafuvu ge babadde baziinze ng’emipiira mu bantu ababadde batudde mu maaso. Omuwandiisi olw’obusungu aboggoledde abamubadde okumpi nga bw’abajjukiza nti Amasiro nalwo Lubiri era basaanye okugawa ekitiibwa. Abavubuka bakkakkanye era ekikolwa kino eky’ekivve ne kikoma mu kifo awo omuwandiisi w’abadde atudde.
–          Okuleetawo okusindikagana okugenderere ng’abantu bafuluma Amasiro. Waliwo abantu abazirise n’abalala ne balinnyibwa kumpi kufa. Obwana obumu bubuliddwako bakadde baabwo mu kusindikagana kuno okukoleddwa akagenderere.
–          Okusala ensawo. Waliwo akwatiddwa

–          Okusaalimbira mu nsuku z’Amasiro.
Abakozi b’effujjo bano abamu babadde mu bu T-shirt obuddugavu obwakubiddwako ekifaananyi kya Bbeene ng’atudde ku Nnamulondo. Mmengo ebadde terina ky’emanyi ku kikoosi ky’abantu abo bu T-shirt buno era eyo y’engeri gye kitegeerekese nti abantu bano babadde baweendule.
Ng’ebyo biteereddwa ku mabbali, omukolo gubadde gulaga ensi nti Obuganda bukyawagira Obwakabaka era buli mabega wa Ssaabasajja.

Awangaale Ssabasajja

Omuwandiisi

About ekitibwakyabuganda

Ba Ssebo ne ba Nyabo, Twebaza Abaganda bonna abulumulirwa Obuganda . Era twebaza ne mikwano gya Buganda gyonna wonna wegiri munsi yonna. Omukutu guno gwatandikibwawo nga e’kigendererwa kwe kuyigiriza abantu ebintu ebikwatagana no’Buganda era nokuwanyisiganya ebilowozo nebanaffe abatali Baganda. Abaganda ne mikwano gya Buganda mukozese omukisa guno muwereze ebirowozo byamwe no’bubaka bwona obunaagasa Abaganda na’baana Buganda berizala mu maaso eyo. Obumu ku bubaka obuwerezebwa ku mukutu guno bugyibwa mukuwanyisiganya ebirowozo okubera kumukutu gwa Ugandan’s at Heart (UAH) Forum ogwatandikibwawo Mwami Abbey Kibirige Semuwemba. Era twebaza muzukulu wa Kintu ne Nnambi ono olw’omulimu gwakoledde bana Uganda bonna abali e’bunayira mungeri yo kubagatta mu byempuliziganya no’kutumbula okukolaganira awamu.

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out / Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out / Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out / Change )

Google+ photo

You are commenting using your Google+ account. Log Out / Change )

Connecting to %s