Buganda tujjukira okwefuga olwaleero

Standard

 

Buganda tujjukira okwefuga olwaleero okuva mu  offisi yamawanga AMATWAALE (commonwealth) aga Bungereza. Buganda nga EGGWANGA baali balitutte. Oluvanyuma lw’Abaganda okutabaala Abangereza, baatuddiza obuyinza bwaffe bwebatusanga nabwo obujjuvu.
Ssekabaka Muteesa 1 yeyakola Endagaano ya  Buganda Protectorate  n’Abangereza ate Ssekabaka Muteesa 11 nasiibula nebatwamuka.
Ekyennaku ate bannaffe abaddugavu kati bebatutwaala okuvira ddala ku Obote nabuli kati, twelwaneko Abaganda twetwaale fekka. “Tukole tutya?”  Tuleme kukkiriranya  nabasigaddewo nti twefugira  ku lunaku lwelumu wamu n’Amawanga agasigaddewo mu Uganda.
Yali Kitange Serwano Serwabwe Kaggwa, eyebase e Ddandira Mukono Kyaggwe,eyabeeranga e Butebo Bukedi  n’Abakedi bangi bemmanyi  abenyigira ennyo mu lutalo lwokuleeta Obwetwaze bwa Buganda ne Uganda nga bayita mu kibiina kya Uganda National Congress ekyayitibwanga ekya  I. Musaazi nabalala bangi  nga bassa kimu nga Enkuyege bebaana enzaalwa kaswa eza Uganda sossi ba Sserwajja okwoota.
Naye kati mulaba JOHN KALEKYEZI  yatimbibwa amayinja, abaffe Abu Mayanja ali luddawa nebanne? Abaganda naddala mmwe muzukuke, Communism ne Socialism owekiddugavu ajjirira.
Okujjako nga Omuganda oyo teyasomerako ddala, nokutegeera tategererako ddala nakamu, yayinza okwogera nti  Uganda twefugira wamu nga october 9,1962.
Abaganda naddala  ffe,twefungirize wamu twetereewo Federo gyetwalina  eyaamaanyi nokusingawo. Amawanga amalala agagaala Federo, ganatulabirako negatugoberera. Mujjukire Tewali alina Federo mu kikapu gwetunagisaba agirinako Obuyinza eyeyita Katonda. Ffe Abaganda ffe Federo, bwetutabaawo, bwetutagitekawo, ne Federo teberawo.
Bwemuva kubyange mugende ku wa Ngatto- Omulabi.
Ndi Omuliga,
Rev. Nnakabaale Kaasa
African Liberation Theology Apologist
e Boston, USA

bumaaya@yahoo.com

About ekitibwakyabuganda

Ba Ssebo ne ba Nyabo, Twebaza Abaganda bonna abulumulirwa Obuganda . Era twebaza ne mikwano gya Buganda gyonna wonna wegiri munsi yonna. Omukutu guno gwatandikibwawo nga e’kigendererwa kwe kuyigiriza abantu ebintu ebikwatagana no’Buganda era nokuwanyisiganya ebilowozo nebanaffe abatali Baganda. Abaganda ne mikwano gya Buganda mukozese omukisa guno muwereze ebirowozo byamwe no’bubaka bwona obunaagasa Abaganda na’baana Buganda berizala mu maaso eyo. Obumu ku bubaka obuwerezebwa ku mukutu guno bugyibwa mukuwanyisiganya ebirowozo okubera kumukutu gwa Ugandan’s at Heart (UAH) Forum ogwatandikibwawo Mwami Abbey Kibirige Semuwemba. Era twebaza muzukulu wa Kintu ne Nnambi ono olw’omulimu gwakoledde bana Uganda bonna abali e’bunayira mungeri yo kubagatta mu byempuliziganya no’kutumbula okukolaganira awamu.

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out / Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out / Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out / Change )

Google+ photo

You are commenting using your Google+ account. Log Out / Change )

Connecting to %s