Olukiiko lw’Abaganda mu UK & Ireland

Standard

Abaganda bannange mu Bungereza ne Ireland

Mbalamusizza nnyo era mbebaaza emirimu gyemukola.  Abasiinga mumanyi nti kyasalibwawo okutandikawo Olukiiko lw’Abaganda mu Bungereza (okufananako Tabamiruka mu USA) era newalondebwawo akakiiko ‘Constitution Drafting Committee’ okubaga ssemateeka olukiiko luno kwerunatambulira.

Munajjukira nti ebbago erisooka lyabagibwa era neriweerezebwa e Mengo.  Katikkiro wa Buganda yakwasa Ssabawolereza wa Buganda ebbago lino aliyitemu n’oluvanyuma twafuna ebiteeso (comments) ku bbago okuva e Mengo

Akakiiko akabaga ssemateeka kaayiita mu biteeso bya Mengo era nekakyusa mu bbago okugattamu ku bimu ku biteese bye’Mengo.

Munajjukira era nti mu lukiiko lw’abakulembeze b’ebibiina by’Abaganda mu Bungerezza olwaliwo nga 30 July 2010, kyakiriganyizibwako nti Olukiiko luno lujja kulondebwa mu lukiiko lwa bonna olunasooka (First Annual General Meeting) nga 27 November 2010.

N’olwensonga eyo, kulw’akakiiko akabaga ssemateeka, nkwasizza ku bbaluwa eno nate, ebbago lya ssemateeka wamu ne ‘Terms of Reference.  Osabibwa okuyita mu biwandiiko bino, obiwerezeeko ne buli gwekikwatako n’oluvanyuma owerezze ebirowoozo byo nga enanku z’omwezi 30/10/2010 tezinayitawo okusobola okuwaayo obudde okuyita mu birowoozo ebyo, okusalawo ebikyusibwa mu ssemateeka n’okukyusa ebbago.

Click also on the guidance documents below.

OLB_TOR_Draft 1_2009-09-01

OLBB_Constitution_Draft 2_2010-07-24

Nze G W Kalanzi

Omuwandiisi

(Kulw’akikiko)

buganda.uk@gmail.com

About ekitibwakyabuganda

Ba Ssebo ne ba Nyabo, Twebaza Abaganda bonna abulumulirwa Obuganda . Era twebaza ne mikwano gya Buganda gyonna wonna wegiri munsi yonna. Omukutu guno gwatandikibwawo nga e’kigendererwa kwe kuyigiriza abantu ebintu ebikwatagana no’Buganda era nokuwanyisiganya ebilowozo nebanaffe abatali Baganda. Abaganda ne mikwano gya Buganda mukozese omukisa guno muwereze ebirowozo byamwe no’bubaka bwona obunaagasa Abaganda na’baana Buganda berizala mu maaso eyo. Obumu ku bubaka obuwerezebwa ku mukutu guno bugyibwa mukuwanyisiganya ebirowozo okubera kumukutu gwa Ugandan’s at Heart (UAH) Forum ogwatandikibwawo Mwami Abbey Kibirige Semuwemba. Era twebaza muzukulu wa Kintu ne Nnambi ono olw’omulimu gwakoledde bana Uganda bonna abali e’bunayira mungeri yo kubagatta mu byempuliziganya no’kutumbula okukolaganira awamu.

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out / Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out / Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out / Change )

Google+ photo

You are commenting using your Google+ account. Log Out / Change )

Connecting to %s