Katikkiro J.B. Walusimbi Alekere Awo Okusolooza Ssente z`Okuzaawo Okuzimba Amasiro Ga`Buganda e`Kasubi

Standard
Mbalamusiza nyo banaange Abalungi Abasoma Ebigaambo byaange bino ku Mulundi guno era nembebaza Emirimu jonna jemukolera Obuganda mu Kaseera kano Akazibu Obuganda bwekalimu nga kali ku Mulimu ogw`Okwenunula oluvanyuma lw`Okuwambibwa Abantu abalina Ebigendelelwa eby`Enjawulo.
Ebiseera Ebisiinga sitera kuwa Ndowooza yaange ku buli Nsoonga ya Buganda kulw`Ensoonga mba manyi nti Abakutte Ensoonga za Buganda e`Mengo Ebintu babitegeera bulungi naye geenda okulaba nga Ekintu kimpitiriddeko negaamba nti bwekuba nga kuwabula kampabule oba kutangaanza kantagaaze Obuganda awamu n`Abaganda, gattako n`Emikwaano ja`Buganda.
Kampite mu Bwaangu nga Omubi Alinya Obuliri, Bajaajja Ffe nga Bwebalugera.
Katikkiro Omwaami J. B. Walusimbi Enfunda Nnyiingi nyo ddala ategezezza Obuganda, Abaganda awamu n`Emikwaano ja Buganda nga bwabasaba baweeyo Ssente z`Obukadde/Obuwuumbi bweyetaaga okuzzaawo Amasiro gaffe aga`Buganda e Kasubi agayokyebwa Omuntu naguno gwaaka atanategerekeka.
Njagala Okusaba Omwaami Katikkiro J. B. Walusimbi akozese Ekitibwakye nga Katikkiro wa Buganda, ayimirize okusolooza Ssente mu Bantu nti ageenda kuzzaawo Amasiro agayokyebwa e Kasubi era ne Ssente zabadde yakasolozaawo, musaba asabe Obuganda bumuwe Olukusa, olumukkiriza Ssente ezo azikozese mu Makubo amalala mu kuyaamba Enkulakulana mu Buganda oba ne Mubituundu ebirala ebya`Mikwaano ja Buganda.
Olw`Ensoonga zino zegeenda Okumenya wano wamaanga Olunaku lwa`Leero ku Mulundi guno:
Njagala Okujjukiza Omwaami J. B. Walusimbi nti: Amasiro ago age Kasubi agayokyebwa, Bajaajja Ffe bwebaali bagaziimba tewali Ssente yonna yasolozebwa okuva mu Bitundu bya Buganda ebyenjawulo, Amasiro ago gazimbibwa bajaajja Ffee nga bagazimbira ku Musinji gwebalina mu Kiseera ekyo gwebayitaanga “Bulungi bwa`Nsi” Omutima gwa Buganda Ogutaffa.
Ssebo, Katikkiro Mwaami J. B. Walusimbi, Okimanyi bulungi Nnyo ddala nti bajaajja ffe balekaangawo Amakagaabwe nga Batenye Emmuli Enjoyoote Obulungi enyo awamu n`Essubi erisingayo obulungi nebasibula abomakagaabwe nebageenda Okuziimba Olubiri lwe`Bamunanika oba ne ndala ezifanaganako nga olwo, okwo nga kwotadde Ebiyitililwa bya`Kabaka wonna mu Buganda nga tebaliiko Abakase,abasindikirizza oba okubajjirayo Kibooko nga kati bwekiri ku Muleembe guno, Abantu bakusaba obawe Obuyinza Bbo bekolemu Omulimu zazzeewo Amasiro gaabwe oba Eby`Obuwaanga byaabwe obategeeza nga “UNESCO” bwelina okumala okusalawo.
Mu Ndagaano za Buganda zeyakola ne Government ya Uganda mulimu Akawayiro akagaamba nti Buganda bwenebaanga eyagala Okuzza Obumpya/Obujja eby`Obuwaanga byaayo ebiriba byononese elwensoonga ezitali zimu erina kumala kusabaanga Lukusa okuva Mubitongole Ebifuga eby`Obuwaagwa mu Nsi yonna?
Mw. J. B. Walusimbi, Olina Ensiko y`Essubi yonna – yonna jutukiridde mu Buganda nga wetaaga Essubi okuzzaawo Amasiro, nanyiniyo nakugaamba nti nze okukuwa Essubi lyaange netaaga Obuwuumbi/Obukadde bwa`Ssente bwebuti?
Neku`Mmuli bwootyo? oba Obuso, Obugoogwa, Emiti, Abakozi nebilara ebyetagisa mukuzzaawo Amasiro nobyanjula eri Obuganda nti Okusinziira kub`Essubi, ab`Emmuli, ab`Emiti, Abakozi and e.t.c Ssente zebansabye kyenvudde mbasaba muwe Mengo Ssente zino tuzzeewo Amasiro gaffe age`Kasubi agayokyebwa?
Mw. J. B. Walusimbi, nze Awandiika bino byosoma era n`Abanga bonna byebasoma, awamu n`Emikwaano ja Buganda nabo byebasoma, Ndi Musajja Muganda era ndi Musajja Mulangira, atalina kukubaganyaako bilowoozo, Abaganda n`Emikwaano ja Buganda kyebetaaga kiri Ekintu Kimu kyokka, Mengo ekeere ku Mankya elangirile nti Akuzaawo Amasiro tekyaali Nsoonga ya Mengo, eyo Ensoonga tujirekedde Abaganda awamu n`Emikwaano ja Buganda, Mmwe mwenyini mwekolemu Omulimu mulabe nga Amasiro gaffe gandawo nga bwegaali oba nokusiinga nga bwegaali. Ojjakulaba Omulimu nga bwegutaambula because kakati Mw. J. B. Walusimbi ofuse Abazimbi kyebayita Stubborning Block ebalemesa okukola Emirimu jaabwe obulungi nga bwekyetagisa.
Mw. J. B. Walusimbi, Ssebo Katikkiro wa`Buganda, nkakasa bulungi Nnyo nti walabye ekyabaddewo ku Katale ke`Nakasero Omuntu atategerekese bweyajjeeyo Bendera ya Buganda Waggulu nga agezaako okulaga obukyaayi nti tayagala Bendera ya Buganda kubeera nga Yewuuba mu Kifo ekyo. Abantu tebekozeemu Omulimu? Okukakkana nga Bendera teyewuuba,,,,, Oba ekyo basobodde okwekolamu Omulimu, olowooza nti Amasiro ago Ffe nga Abaganda awamu n`Emikwaano jaffe eja`Buganda ganatulema okuzzaawo? Please see this Link:zLZAqGJDYzg
Abantu mubawe Emireembe jaabwe bekolere ku Bintu byaabwe nga bwekyaali olubelyebelye, ekinabaanga kibalemeredde bwebanekubiraanga Omulanga jemuli munabayambaanga naye Ssebo Kati Egguudo mu Byaalo yonna zizise, Emigga gibotose tewali ayamba naye njagala Ombulire okuva edda nedda Bulungi bwa`Nsi ne Ggwaanga Mujje nga bikyakola Omulimu gwaabyo Egguudo, Matuubwe, Lwajjali, Ssezzibwa, Ggavu byaali tebinyirila?
Maliriza nga nkusaba Ssebo Katikkiro wa`Buganda, Omwaami J. B. Walusimbi, nti Abaganda, Mengo ebawe obuyinza okwekolera ku Nsoonga z`Ebyobuwaanga bwaabwe bazekolereko mungeri yeemu nga ba Jaajjabwe bwebazenyigirangamu nawe Emirimujo bwegijja okukwanguyira era wezimbire n`Erinya Edduungi eri Abaganda ne Buganda awmu n`Emikwaano ja Buganda.
Awangaale Ssabasajja Kabaka Mugulo Nnyoondo ne Nabagereka Agerekere Obuganda.
Nsigadde Mpitibwa,
Bazukulu Ba`Butanazziba Kasabbanda.
 
Kampala – Uganda

About ekitibwakyabuganda

Ba Ssebo ne ba Nyabo, Twebaza Abaganda bonna abulumulirwa Obuganda . Era twebaza ne mikwano gya Buganda gyonna wonna wegiri munsi yonna. Omukutu guno gwatandikibwawo nga e’kigendererwa kwe kuyigiriza abantu ebintu ebikwatagana no’Buganda era nokuwanyisiganya ebilowozo nebanaffe abatali Baganda. Abaganda ne mikwano gya Buganda mukozese omukisa guno muwereze ebirowozo byamwe no’bubaka bwona obunaagasa Abaganda na’baana Buganda berizala mu maaso eyo. Obumu ku bubaka obuwerezebwa ku mukutu guno bugyibwa mukuwanyisiganya ebirowozo okubera kumukutu gwa Ugandan’s at Heart (UAH) Forum ogwatandikibwawo Mwami Abbey Kibirige Semuwemba. Era twebaza muzukulu wa Kintu ne Nnambi ono olw’omulimu gwakoledde bana Uganda bonna abali e’bunayira mungeri yo kubagatta mu byempuliziganya no’kutumbula okukolaganira awamu.

7 responses »

  1. But if the people of Buganda failed to contribute to the renovation of Masiro and UNESCO promised to pay for reconstruction with some strings attached then I hope Katikkiro had no choice

  2. mukulu PATRICK ddamu osome omulmwa kwetuvudde abaganda tebanalemererwa kusonda
    obuzibu tebuli mukusonda obuzibu bwa KATIKIRO butawa baganda mukisa gwedizawo byabwe
    abaleke nebwekinaba kyetagisa sente era baja kuzisonda naye ngabamanyi nti basonda sente za ssubi oba mmuli oba bugogwa kuba bebikulu ssosibuwumbi nga bwebagamba bwamala ekyo agambe nti abagnda omulimu gubalemye amasiro siga unesco amasiro gabaganda nobuganda bwona okutwaliza awamu kuba era gabade gayingiza sente ngasi unesco nti yegalabirira wabula abaganda nobuganda ebintu mubije mubyenfuna mubise mukweddabulula: Nsigade ndi KIMBUGWE CHARLES OMUWOLOGOMA

  3. I am no longer certain where you’re getting your info, but good topic. I must spend a while studying much more or figuring out more. Thanks for excellent information I was searching for this information for my mission.

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out / Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out / Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out / Change )

Google+ photo

You are commenting using your Google+ account. Log Out / Change )

Connecting to %s