Luganda proverbs that can get you Inspired(PART 1)!

Standard

BY DR.PAUL SSEMALUULU
School of Computing and Informatics Technology
Tel 256 702 271957

AB’EMPAKA ABABIRI…
TEBAWALA LUGA.

Amakulu:
Oluga luzibu okuwala kubanga lubaako amaggwa. Abantu okuluwala ababiri bateekwa okuba nga bakkiriziganya. Olugero olwo lutuukira ne ku mirimu gyonna emizibu. Kiba kizibu abantu abatakkiriziganya okubeera oba okukolera awamu.

AB’OMUGUMU BABA BAKAABA…
NG’AB’OMUTI BASEKA.

Amakulu:
Omuvumu bw’atakozesa magezi bamutta mangu.

ABAAGALANA…
TEBAFUNDA.

Amakulu:
Abaagalana bwe batuula awamu, akafo ne bwe kaba akatono ennyo bakagyamu.

ABAANA BA KINTU…
TEBAGGWEERAWO DDALA.

Amakulu:
Kigambibwa nti Kintu ye yasooka okugatta Abaganda ng’eggwanga erimu, kyeyava ayitibwa kitaabwe. Ate okuva lwe yabagatta n’okutuusa kati tebaggwangawo newankubadde nga bafa ekiro n’emisana.

ABABIRI BABIBIRA EBIGAMBO…
ABASATU BABISATTULA.

Amakulu:
Ekintu ekikyali eky’ekyama bwe kimanyibwa abantu abasukka ku babiri nga kimaze okusaasaana.

ABAGAGGA N’ABAGAGGA BAAGALANA…
EKIREVU KIYITA KU BISIGE NE KIGENDA KYEGATTA N’ENVIIRI EZIRI EWALA.
Amakulu:
Abagagga okwagala bagagga bannaabwe kye kya bulijjo kubanga baba na bingi ebyokunyumyako ebikwata ku bugagga.

ABAGENYI MAKONDWE…
AGAMU GASEGULIRA GANNAAGO.
Amakulu:
Emigogo bwe givunda gifuuka nkondwe. Mu lugero, enkondwe gye baayita amakondwe. Enkondwe bw’emala okufuuka ettaka ng’ate waddawo endala. N’abagenyi bwe baba mu maka. Abaasoose bwe bagenda ng’ate abalala bajja.

ABAKONDEERE…
BAKWANYA MIKKA.

Amakulu:
Abakondeere bakwanya bulungi oluyimba nga bafuuwa amakondeere. Oluyimba luva mu mukka gwe bafuuwa mu makondeere. Kyokka abantu bennyini bayinza okuba nga tebaagalana. Olugero lugererwa ku bantu ababa ku mulimu ogumu oba ku kintu ekimu naye nga tebaagalana.

ABAKOPI MAYENJE….
GAGWA WALIME.

Amakulu:
Edda omwami yamalanga kulya kyalo abantu ne bamusenga.

ABAKOPI MUWEMBA…
BW’OGUSAAYIRA KUDDA MULALA.
Amakulu:
Edda Kabaka bwe yattanga abantu ng’ate bamusiigira abalala.

ABALAMU MAGOMA…
GAVUGIRA ALIWO.

Amakulu:
Omuntu banne bamuwaana akyali nabo. Bw’avaawo nga bamwerabira.

ABALIRIRA EKIGULA ENKUMBI…
TAWA MUNNE SSOOLI DDENE.
Amakulu:
Omuntu bw’adda mu kulowooza ensimbi ze yaguza ekintu oba ebintu, tayinza kubiwaako balala.

ABALUNGI MBWA YA NAMAASO…
BW’ETEBBA N’EYIGGA.
Amakulu:
Embwa ya namaaso, esanyusa okulaba ate ng’eyinza okuba engizzi. Naye bw’eba enzibi tewaba agyagala. Abantu abalabika obulungi nabo basanyusa okulaba naye abamu baba n’emize egibakyayisa.

ABALUNGI NDAGALA NNAMU…
TEZIGGWA MU LUSUKU.

Amakulu:
Endagala Ennungi teziggwa mu lusuku. N’abantu abalungi tebaggwa mu nsi,, kyekiva kitaba kirungi omuntu okwagala okufiira ku mulungi gw’alabye oba okufiirwa ebibye byonna.
ABANGI BWE BAKWEBAZA…
NGA LUWEZE.
Amakulu:
Abangi bwe boogera ekigambo kitera okuba ekituufu.

ABANGI WE BASIMBA OLUNWE …
WE KYABIKIRA.

Amakulu:
Olwo baalugerera ku kizimba naye amakulu gali nti abangi bwe boogera ekigambo kitera okuba ekituufu.

ABANTU BALAMU BITOOKE BISALIRE…
TEBYEKWEKEBWAMU.
Amakulu:
Ebitooke ebisalire amaaso gabiyitamu mangu, ne galaba ebirimu. Abantu tebayinza kukweka muntu n’abulira ddala oba ebyama bye.

ABANTU BALAMU MAGOMA…
GAVUGIL’ARIWO

Amakulu:
Engoma bwebazikuba zivigira aliwo, era yasanyuka nga bazikuba. Nabantu bwooba nga alinawo kyolina, gamba nga sent bangi bakweyunira. wabula bwezigwawo tolaboko wadde noomu. Manya engeri yo kukolagana mu na bantu naddala nga alinawo kyolina.

ABANTU BALAMU TEBEESIGWA…
JJUNJU BAALEKA MALANGALA.
Amakulu:
Kabaka Jjunju yattirwa Malangala mu Busujju, ng’alwana ne muganda we Ssemakookiro. Jjunju olwattibwa ng’abantu bagenda kussa Ssemakookiro ku Namulondo. Abantu baagala aliwo.

ABASA N’ABASA…
BAASISINKANA KIJONJO.

Amakulu:
Omusajja yasiba omutwalo gw’ebyoya by’enswa n’agutwala mu katale e Kijonjo, mu Buddu, agutunde ng’aguyita enswa. Omusajja omulala ye yasiba biwero bya mbugo mu mugugu n’abitwala era mu katale ako ng’ayagala abitunde ng’abiyita omugugu gw’embugo. Bombi olwasisinkana ne bagulaana nga buli omu alowooza nti akutte omujega. Buli omu bwe yadda ebbali okulaba eby’endola by’afunye n’alaba ng’afunye bitaliimu. Ku basajja abo kwe kwava olugero olwo olugererwa ku bakumpanya ababa basobolaganye mu bulyake.

ABASAJJA MIVULE…
GIWAATULA NE GIGGUMIZA.
Amakulu:
Emivule gisuula amakoola ate ne gifuna amalala. N’omuntu ayinza okuggweebwako ensimbi oba ebintu naye bw’anyiikira okukola ayinza okufuna ebirala.

ABATAKA ABAAGALANA…
BE BALIMA AKAMBUGU.

Amakulu:
Ab’omuliraano abaagalana basobola okulima olumbugu ne balumala mu bibanja byabwe. Bwe baba tebaagalana tebalumalaamu. Abantu abataagalana tebasobola kuwangula bizibu ebiba biboolekedde.

ABATAKA NKWENGE…
GW’OLYA NAYE Y’AKUTTA.
Amakulu:
Ennyonyi eziyitibwa enkwenge zisekereza nnyo nga ziri mu kibinja. N’abantu bayinza okulabika nga basanyuka ne bannaabwe songa munda bateekateeka kubakola bubi.

ABAYITA ABABIRI…
BEJJUKANYA, ENVIIRI ZIKULAGA ENGO.

Amakulu:
Enviiri bwe ziva omuntu ku mutwe amanya nga waliwo ekintu eky’akabi okumpi naye. Abantu bwe bayita ababiri basaana okuyambagana mu buli kizibu.

ABIKKA KU MADDU…
NTI “MALAKO ENNYAMA OMPE EGGUMBA” NTI OGENDA KULYAMBALA MPOGO?

Amakulu:
Eggemu ly’essanga oba ery’amannyo g’ensolo endala lye liyitibwa empogo. Okusaba omuntu okumala ennyama ku ggumba alikuwe kuba kutya kumugamba nti, “Mpa ku ggumba nnumeko”, ng’olowooza nti ajja kumanya bw’oli ow’amaddu ennyo. Olugero lutuukira ku bantu bonna abatya okusaba obutereevu bye beetaaga ne balimba mu ngeri eyo.

ABOOLUGANDA BITA…
BIKOONAGANA TEBYAATIKA.

Amakulu:
Ebita bwe bikwatirwa awamu nga tebabisibye kubinyweza bigenda bikoonagana naye ekyo tekibyasa. N’abooluganda okuyomba oba okulwana tekuggyaawo luganda lwabwe era tekusaana kubaawukanya.

ABOOLUGANDA BWE BAYOMBA…
TOSSAAWO KIKYO.

Amakulu:
Abooluganda abategeevu bwe bayomba oba bwe balwana ate batabagana mangu ne baddamu okuteesa n’okwagalana. Ggwe atalina luganda ku bbo bwe weeyingiiza mu luyombo oba mu lutalo lwabwe, ggwe bakyawa ennyo. Olugero lutulabula obuteeyingiza mu bintu ebitali byaffe.

ABUMBA AKAZA …
AWULIKIKIRA WALA.

Amakulu:
Abantu abakola obulungi ebintu ebyetaagibwa bamanyika mangu; tebeetaaga na kweranga.

Advertisements

About ekitibwakyabuganda

Ba Ssebo ne ba Nyabo, Twebaza Abaganda bonna abulumulirwa Obuganda . Era twebaza ne mikwano gya Buganda gyonna wonna wegiri munsi yonna. Omukutu guno gwatandikibwawo nga e’kigendererwa kwe kuyigiriza abantu ebintu ebikwatagana no’Buganda era nokuwanyisiganya ebilowozo nebanaffe abatali Baganda. Abaganda ne mikwano gya Buganda mukozese omukisa guno muwereze ebirowozo byamwe no’bubaka bwona obunaagasa Abaganda na’baana Buganda berizala mu maaso eyo. Obumu ku bubaka obuwerezebwa ku mukutu guno bugyibwa mukuwanyisiganya ebirowozo okubera kumukutu gwa Ugandan’s at Heart (UAH) Forum ogwatandikibwawo Mwami Abbey Kibirige Semuwemba. Era twebaza muzukulu wa Kintu ne Nnambi ono olw’omulimu gwakoledde bana Uganda bonna abali e’bunayira mungeri yo kubagatta mu byempuliziganya no’kutumbula okukolaganira awamu.

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out / Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out / Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out / Change )

Google+ photo

You are commenting using your Google+ account. Log Out / Change )

Connecting to %s