Luganda proverbs that can get you Inspired(PART 2)

Standard

By Dr.Paul Ssemaluulu
School of Computing and Informatics Technology
Tel 256 702 271957

AKAGANDA AKATONO…
KAKIRA OMUKWANO.

Amakulu:
Omukwano bwe gufa guyinza obutaddawo naye oluganda teruggwa ku mubiri.

AKAJJA OBUNAKU KEEMANYA…
EJJANZI TERIGENDA NA NZIGE.
Amakulu:
Ejjanzi lyemanyi nga terigya mu nzige, kyeriva litagenda nazo. N’omuntu kirungi amanye abantu ab’eddaala lye b’asaana okuyita nabo.

AKAKADDE AK’OBUGGYA…
AMAGGWA GAKAFUMITA EMIRUNDI EBIRI.

Amakulu:
Akakadde ak’obuggya bwe kalinnya ku maggwa mu kkubo ne gakafumita tekagaggyaamu, nga kaagala gafumite n’abatambuze abalala. Bwe wataba agaggyawo ne kakomawo nga kageerabidde ng’ate gongera okukafumita. Ab’obuggya bangi beerumya mu ngeri nnyingi nga bagenderera okulumya abalala.

AKALAGAANE…
TEKAGGYA BULIIKA.
Amakulu:
Omuntu bw’alagaana ne munne okumusasula ensimbi oba ekintu ekirala bombi ne bakkiriziganya, okusasula bwe kutuuka, asasula tasaana kuyita munne muliika.

AKALINA ABIRI…
OKASUKA EJJINJA NGA KALABA.
Amakulu:
Olugero lwagererwa ku kasolo oba akanyonyi naye n’omuntu amanyi okwerabirira tatera kugwa ku mitego gya balabe be.

AKAMIRA EYIYE…
TAGISEERA MATA.
Amakulu:
Omuntu bw’aba aliisa abantu be afuba nga bw’asobola okubakkusa.

AKAMWA AKANGU…
KAKUYITABYA OW’EBBANJA.
Amakulu:
Bw’oyitaba amangu omuntu azze okukubanja ate nga by’akubanja tobirina oba otuuse awazibu. Bulijjo omuntu asaana okwanukula n’amagezi abamuyita n’abalina kye bamubuuza.

AKASOLO TEKANNAFA…
NTI, “OMUKIRA GWA JJEMBE LYANGE”!

Amakulu:
Omuntu ayogera bw’atyo aba ng’atamanyi ky’akola kubanga aba yeesunga ky’atannaba kutuukako.

AKASUKA LY’ALI NALYO (EFFUMU)…
TABA MUTI.
Amakulu:
Omuntu bw’akola kyonna ky’asobola okutaasa banne nga bali mu kabi oba ye okwetaasa, tayitibwa muti.

AKASUKKA OMUMIRO…
TEKABALWA

Amakulu:
Ebirungi byonna bwe bimala okuyita nga tebikyajjukirwa.

AKATAAZIMBE…
EMMULI KAZITWALA BUKIIKA.
Amakulu:
Okutwala emmuli obukiika oba ng’agenda okuzimenya, okwo kuba kulemwa mulimu gwe ziba zisaana okukola. Omuntu yenna bw’atandikira ku kwonoona by’anaakozesa, ng’omulimu gumulemye.

AKATALI KABBE…
EGGUMBA OSUULA MU LUGGYA.
Amakulu:
Eggumba ly’ennyama eteri nzibe w’oyagala w’olisuula kubanga toba na kikweraliikiriza. Ebibbe bikolerwa mu nkukutu era tebyesiimisa.

AKATEESIZE…
TEKAKUBA BBIRI.

Amakulu:
Ensolo ezaala ebbiri omulundi ogumu esaana ebe n’amata mangi. N’omuntu okwessa ku bizibu by’atasobola, asaana abe ng’alina kye yeesiga.

AKATONO…
KAZZA OMUKWANO
Amakulu:
Bye tuwa bannaffe ne basanyuka tebiba binene byokka.

AKATONO AKATUUSE…
KAKIRA EKINENE EKISUUBIZE.

Amakulu:
Okuwa omuntu ekintu ekitono kisinga okumusuubiza ekinene ate n’otokimuwa.
AKATONO KAZIRA MU LIISO…
BWE KADDA ERI OMUMWA NG’OMIRA, BWE KAKUGWA MU LIISO NG’OKAABA.
Amakulu:
Okugaba kuva mu kwagala. Ekiwe mu kwagala kisanyusa, ne bwe kiba ekitono.

AKEEZIMBIRA …
TEKABA KATO.
Amakulu:
Omuntu bwe yeefunira amaka, aba takyabalirwa mu bato.

AKEKKERA NG’OW’EKIREVU AKUMA OMULIRO…
NTI, “MUMPE ESSUBI”.

Amakulu:
Oyo bamugamba nti singa akumisa eryo ly’alina ku kalevu. Ebyo bya kusaaga.

AKEKKERA NG’OW’EKIWALAATA …
NTI, “EKIMMALAKO ABAANA SIKIMANYI!”
Amakulu:
Oyo ayinza okubuuzibwa nti, “Ekyakumala enviiri ku mutwe kyo okimanyi?”

AKEKKERA NG’OW’EKIWALAATA ABIKA NTI, “LWATWERA”…
NTI NAFFE EKYENYI TUKIRABA.

Amakulu:
Ebigambo ebyo bigambibwa omuntu asaagira ku bintu eby’akabi.

AKEKKERA NG’OW’EKIWALAATA AKKIRIRA EKIBIRA…
NTI, “ONTEREKERA AKATTA”.
Amakulu:
Obutta babuseera ku lubengo. Mu kusaaga, ekiwalaata kye bayita olubengo. Kale omuntu ayinza atya okusaba okumuterekera akatta ng’ate olubengo agenze nalwo! Olugero lugerebwa ku muntu asaagira ku bintu eby’akabi.

AKIIKA EMBUGA…
AMANYA ENSONGA.

Amakulu:
Okubeera ennyo mu Baami kwayambanga abantu okufuna amagezi mu kusalira abantu ensonga zaabwe.

AKIVAAMU…
Y’AKIYITA EKYATO.

Amakulu:
Omuntu amala kuwunguka, eryato mw’awungukidde n’aliyita ekyato. Abantu abamu bwe bamala okutuusibwa ku birungi ng’ababatuusizza babavuma oba nga babanyooma.

ADDINGANA AMAWOLU…
Y’AGAGGYAKO OMUKKUTO.
Amakulu:
Amawolu tegatera kukkusa naye omuntu bw’agalya nga bw’agavaako gayinza okumukkusa. N’omuntu anyiikirira ekintu kyonna ekizibu y’ayinza okukiggyamu omugaso oba okukiwangula.

ADDINGANA EKITIKO…
Y’AKIGGYA.
Amakulu:
Okusobola okulaba obutiko nga bumeze ku kibaala era nga butuuse okuggya, ekitiko omuntu ateekwa okukirambula emirundi mingi. Buli kirungi omuntu ky’ayagala okufuna ateekwa okukiteganira.

AFUNA …
ADUULA.
Amakulu:
Abalina ebintu ebingi batera nnyo okuduulira abatabirina.

AFUUYIRIRA ZIRWANA…
WAKASANKE MU LWA MPANGA.

Amakulu:
Enkoko empanga bwe zirwana Wakasanke aba atuzza ya lukugunyu, ng’asuubira okulonda ekyoya azimbise. Obutategeeragana bwe bujja wakati w’abantu abakulu, abantu abamu babaako bye bagasibwamu ng’okufuna ku bintu byabwe.

AGAFUMA…
BAGEBEJJEREZA TAABA.
Amakulu:
Amannyo g’abakadde, abantu bayinza okugamba nti taaba y’agamyusa songa n’aga nabangogoma atanywa taaba nago gaba mamyufu. Ekintu bwe kyonooneka olw’obukadde, abantu batera okunoonyaayo ensonga endala nti y’ekyonoonye. Ekyo kikolebwa ne ku bintu ebirala bingi.

AGALI AWAMU….
GE GALUMA ENNYAMA. “OW’AMALIBU AKIINA WA NGEREKA.”
Amakulu:
Abantu bwe beegatta okukolera awamu basobola okuwangula ebizibu ebirema omuntu akola abw’omu.

AGAMYUKA OMUTEZI…
N’AKASOLO.

Amakulu:
Omutezi w’ebisolo ategana nnyo ng’atega n’atuuka ne ku kumyuka amaaso. Omutego bwe gukwata akasolo ate nako gukateganya nga bwe gwateganya omutezi. Abalumya bantu bannaabwe mu ngeri ezitali zimu n’ababatta, nabo oluusi amaaso gabamyuka ng’omutezi w’obusolo.
AGATALI MAAWULE…
GOOKYA ENGALO.
Amakulu:
Ab’endya mbi bwe baliira awamu amatooke nga tebagagabanye bayinza okuggya engalo kubanga buli omu aba alya mangu mangu asobole okuweza emmere gy’alidde. Ekyo ab’omululu kibatuukako ne ku biriibwa ebirala.

AGEERWANYALWANYA …
GABA GAAGALA NNYINI NNYAMA.
Amakulu:
Amabwa bwe gatandika okwerwanyalwanya gaba ganoonya wa kulumira nannyini nnyama. Abantu nabo oluusi bayinza okwerwanyalwanya songa baagala kukuba oba kubba muntu mulala gwe bali naye.

AGENDA AKAABA …
TEKIKULOBERA KUMULAGIRIZA.

Amakulu:
Edda omugole yakaabanga nnyo nga bamufulumya mu nnyumba okumutwala ewa bba naye bwe yatuukangayo ng’ayinza n’okumutegeeza ab’ewaabwe bwe baamutumidde ng’ajja.

AGENDA GY’AMANYI…
TAZIBIRIRWA BUDDE.
Amakulu:
Omuntu bw’aba agenda gy’amanyi, obudde ne bwe buziba teyeeralikirira nti taatuuke oba nti anaalya ki ng’atuuse ekiro.

AGENEKERA …
ATUMA ASA.

Amakulu:
Agenekera omunnyo ayinza okuvaawo ne gukenenuka gwokka naye asa obutta bw’avaawo tebuyinza kwesa bwokka. Abantu abalina emirimu emyangu bayinza okwagala okuweerezebwa abalina emizibu.

AGEYA NANFUMBAMBI…
YEETEESA.
Amakulu:
Omutaka oyo Wannyonyi Nakisige. Abeera Mpumu mu Kyaggwe. Edda yasibanga endege ku magulu. Ku ndgege abantu kwe baamuwuliriranga nti wuuyo ajja, eyabanga amugeya ng’abivaako. Olugero owo lutuukira ku muntu yenna abantu gwe bayinza okugeya nga bwe baagala, nga bamanyi nti tayinza kubasangiriza nga bamugeya.

AGYA ERYA NAMMERE…
TEYEEGANYA BAGENYI.

Amakulu:
Omuntu eyafuna ejjembe ery’okwaza emmere tasaana kwekaanya bagenyi kubanga emmere aba afuna ya kubaliisa. Omuntu tasaana kutamwa bantu bw’aba nga y’alina ebibatwala ewuwe.
AJJUKIZA BUSEMBA…
Y’AGIKUBA.
Amakulu:
Busemba yali ngoma ya Bwakabaka. Eminyolo gyayo gyabanga gya magumba ga bantu. Engoma z’Obwakabaka bwe zaabanga zikungaanye nga Busemba teriimu, omuntu n’amala ajjukiza nti teriiwo, oyo abambowa gwe battanga ne bamuggyako eminyolo. Olugero lutulabula obuteebuuzanga bintu bya kabi kubanga tuyinza okubyeyitira.

AK’OMUNTU …
SI KA NTE.
Amakulu:
Ente bulijjo ekaaba mu ngeri emu naye akamwa k’omuntu buli kiseera koogera birala. Omuntu kyava yeegaana ne bye yayogera.

AKAAKYAMA AMAMERA …
TEKAGOLOLEKEKA, ENDEKU BW’OGIGOLOLA EMENYEKA BUMENYESI.
Amakulu:
Obuntubulamu, okwagala okukola, obwesigwa n’ebirala, omuntu asaana abiyigirizibwe ng’akyali muto. Ebyo kyebiva bisinga okuyigirwa mu maka abaana mwe bakulira.

AKAAMI AKATONO…
OKANYOOMERA MITALA WA MUGGA.
Amakulu:
Bw’oba ng’okyali mu buyinza bw’omuntu yenna, osaana okumuwa ekitiibwa ekimusaanidde, ne bw’ataba mwami mukulu nnyo.

AKABI TEKABULA MUSOMBI…
KAJABAGA Y’ASOMBA ABAGANDA.

Amakulu:
Buli kabi kabaako ekikaleeta. Kajabaga ye yalagirira Jjunju akawenda mwe yasomokera okuyingira mu Buddu n’okubuwangula.

AKABIMBI AKATONO…
KAKIRA EKYOSI.
Amakulu:
Okukola akatono ku mulimu kiba kirungi okusinga okwosa.

AKAFA OMUKKUTO…
TEKALULUMA.

Amakulu:
Omuntu bw’alya ebintu nga teyeebalira ne bimulwaza talina gw’anenya. Ekyo kikwata ne ku bintu ebirala omuntu by’akola olw’okwesanyusa ne bimuviiramu akabi.

Advertisements

About ekitibwakyabuganda

Ba Ssebo ne ba Nyabo, Twebaza Abaganda bonna abulumulirwa Obuganda . Era twebaza ne mikwano gya Buganda gyonna wonna wegiri munsi yonna. Omukutu guno gwatandikibwawo nga e’kigendererwa kwe kuyigiriza abantu ebintu ebikwatagana no’Buganda era nokuwanyisiganya ebilowozo nebanaffe abatali Baganda. Abaganda ne mikwano gya Buganda mukozese omukisa guno muwereze ebirowozo byamwe no’bubaka bwona obunaagasa Abaganda na’baana Buganda berizala mu maaso eyo. Obumu ku bubaka obuwerezebwa ku mukutu guno bugyibwa mukuwanyisiganya ebirowozo okubera kumukutu gwa Ugandan’s at Heart (UAH) Forum ogwatandikibwawo Mwami Abbey Kibirige Semuwemba. Era twebaza muzukulu wa Kintu ne Nnambi ono olw’omulimu gwakoledde bana Uganda bonna abali e’bunayira mungeri yo kubagatta mu byempuliziganya no’kutumbula okukolaganira awamu.

One response »

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out / Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out / Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out / Change )

Google+ photo

You are commenting using your Google+ account. Log Out / Change )

Connecting to %s