60 Luganda Proverbs(Engero) and their meanings!

Standard

By Paul Ssemaluulu (PhD)
School of Computing and Informatics Technology
Tel 256 702 271957

1.”BAKUYITA EMBUGA”…SI BUGANZI.
Amakulu:
Buli gwe bayita embuga tebamuyita kumuwa birungi. Oluusi baba bamuyita kumukuba oba kumusiba. Abamu kyebava batya okuyitibwa embuga.

2.”BALEKE BAGGWE AKANYOOMAGANO”…NGA GW’AYAGALA Y’ALI KUNGULU.
Amakulu:
Mukwano gw’omuntu bw’aba ng’alwana n’omuntu gw’asinza amaanyi, munne taba na kweralikirira, kyava tayagala na kubataasa mangu, ng’ayagala mukwano gwe amale okwemala ekkonda ku mwoyo.

3.”BALIKOMYA EYO NE BAZZA”…YE MUNYORO AGENDA.
Amakulu:
Buganda ne Bunyoro bwe zaalwananga edda nga buli ludda olusinza amaanyi luwamba abantu ku ludda olulala. Abawambe abagumu baagezangako okubomba naye abamu baatyanga. Olugero lutuyigiriza butatya kwanganga bizibu.

4. “BALIKUBA KU NDA ERIDDE”… MUKA OMUBBI TALAMULA BBA.
Amakulu:
Baka ababbi baagala eby’okulya n’ebintu ebirala okusinga obulamu bwabwe n’obwa babbaabwe, kyebava batasobola kubalabula.

5.”BALIMUTTA JJO”…TEKIKULOBERA KUMUSENGA.
Amakulu:
Omuntu gwe basalidde ogw’okufa ne bamulaga n’olunaku olw’okuttibwa ayinza okusonyiyibwa n’atattibwa. N’olwekyo abaagala okubeera naye tebasaana kumuddukako.

6. “BALO EMBOGO YAMUTTA”…NTI “BW’ATYO BW’AZIFUMITA”.
Amakulu:
Okwo kwali kubika naye olw’obutawuliriza bulungi, omukazi gwe baabikira teyategeera nti embogo ye yatta bba. Omukazi kyebaava bamuyita “Nampulirazibi”. Bulijjo tusaana okuwulirizanga obulungi ebitugambibwa.

7. “BANDABA”…AFUNDA KU MUNAABO.
Amakulu:
Emmere bw’eba ey’abantu abangi, omuntu gwe batannaba kuwa bw’atayogera, n’alinda okumulaba obulabi, ayinza obutafuna. Mu bintu ebigabibwa byonna, atannafuna tasaana kusirika busirisi.

8. “BANNANGE BANGI”…NGA TONNAGWA WABI.
Amakulu:
Omuntu bw’agwa mu kabi nga banne bamwabulira.

9. “BINSANGA WANO”…Z’ENNIMI Z’OMUKADDE.
Amakulu:
Abantu abakulu bawulira ebintu bingi ebibabuulirwa abantu aba buli ngeri. Ebyo oluusi bye bongeramu ebyabwe ne bafuuka ab’ennimi oba ab’olugambo.

10.”BUKYA MBIRYA”…
OMUNYA GUJJIIRA KU NJU.
Amakulu:
Ennyumba y’ennimiro y’omunya kuba kwe gufuna bye gulya naye bw’eggya nagwo kwe gufiira nga gulaajana. Abantu abaggejjera ku bintu bye banyaga ku bannaabwe nabo oluusi batuuka ku kulaajana bwe batyo nga bafumbikiriziddwa ne bakwatibwa obulungi.

11.”BWE BAAMBUULIRA SAATUULA”…
NGA LWALI LWA MUGAGGA.
Amakulu:
Ennyimbe z’abagagga zituukibwamu abantu abagenda okufunamu obufunyi ebintu, oba okulya oba okunywa.

12.”BYA KUNO”…
TASENGUKA AGOBA BAJJA.
Amakulu:
Omuntu bw’agamba abaagala okusenga ku kyalo kw’ali nti, “Ebya kuno munaabisobola?” aba ng’atabaagaliza kusenga ko kubanga ye aba tavuddeeko.

13.”BYA MPUNA”…
NG’AKUBBYE WA MU NJU.
Amakulu:
Ow’omu nju bw’akubba n’omumanya ebigambo bikulema okwogera amangu.

14.”BYOGERWA MPOLA”…
NG’AKUZAALIRA OMUKAZI ALOGA.
Amakulu:
Omuntu tayinza kwasanguza bigambo bibi bwe bityo, bwebiba nga bikwata ku mukulu amuzaalira omukazi. Ebisobyo by’omuntu omukulu oba ow’ekitibwa tebyatuukirizibwa.

15.”EBIGAMBO BYA KUNO BINGI”…
NG’OMWAMI Y’ASUZA ABABBI.
Amakulu:
Omwami bw’aba nga y’asuza ababbi, ebigambo ebimufaako n’ababbi b’asuza abantu batya okubyogera akaati.

16.”EBIGAMBO BYA KUNO NGA TEBYEKWEKA!”…
NGA BAMUGAMBYE GW’AYAGALA.
Amakulu:
Omuntu okumwogerako nti ayagala gundi, ate era ng’amwagala, tekimunakuwaza.

17.”EBUKOJJA BANJAGALA”…
NG’ADDA KU NNYOKO WAALI.
Amakulu:
Mu mpisa z’abaganda, ebukojja teba wammwe era baganda ba nnyoko bwe batabaayo, tobaayo na ssimba.

18.”EBY’ANFUDDE BINGI”…
AGULA MUTWE GWA NTE.
Amakulu:
Ayagala okulya ku bibye olw’okwekubagiza ng’amaze okufiirwa ebintu asaana kugula nnyama esanyusa so si mutwe.

19.”EBY’OMUGAGGA BIJJA BYOKYA”…
OMUSOTA BWE GUGENDA W’ALI NG’ADDUKA.
Amakulu:
Omusota adduka gwaki anti nga bintu bye bye bigenda gy’ali?

20.”EBY’OMUGAGGA BIVUNDA”…
BW’ALWALA EBBWA NG’ANYIGA.
Amakulu:
Kale singa alireka ne livunda nga bw’agamba.

21.”EBYAKUNO TEBIISOBOKE”…
NGA BAMUWAAYIRIZZA MUKAZI MUKADDE.
Amakulu:
Omusajja okumuwaayiriza okuganza omukazi omukadde kimunyiiza nnyo. Gwe bawaayiriza kyava ayagala n’okusenguka ku kyalo.

22. “EBYOKULYA TEBYANDEETA”…
OMUGENYI AKIINA NNYINIMU.
Amakulu:
Omugenyi bw’atalya bugenyi gy’akyadde n’asiibuza nnyinimu ebigambo ebyo, aba ayoggedde kaati nti anyiize olw’obutamuwa bugenyi. Oluusi omugenyi ayinza okuba nga tayogeza nnyiike naye anti “Kamwa kabi…”.

23. “EGINDI WALA”…
NGA TEKULI MUMANYI.
Amakulu:
Gw’oyagala ennyo ne bw’abeera ewala era owaliriza n’otuukayo omulabeko.

24. “EKKUMI TERIKYAWA OMU”…
NG’ALIKO EYAMUBUULIRA.
Amakulu:
Omuntu bwe bamwogerako obubi ne wataba amubbirako tayinza kugamba nti, “Ekkumi terikyawa omu”.

25.”EKYOKWEBIKKA KIRINTWALA EKIPAALO”…
NGA NE GY’ALIKIGGYA AMANYIIYO.
Amakulu:
Omuntu omugezi agenda okuva mu kifo oba ku mulimu nga gy’agenda alabye nga walungi.

26.”EMBAGA ENYUMA KIRO”…
BW’ATAGENDA KUBBA AGENDA KULWANA.
Amakulu:
Embaga z’ekiro ababbi n’abakozi b’ebibi eby’engeri endala bazaagala nnyo.

27.”EMBUGA TESIIBULWA”…
NGA SI MUGANZI.
Amakulu:
Obuganzi bukozesa ebintu bingi. Omuganzi bw’asiibula, omwami ayinza okumusibirirayo akantu. Ayinza n’okumuwerekerako ne banyumyamu nga bali babiri.

28.”EMBUUZE ZE NVA”…
NGA MWANNYOKO Y’AZIFUMBYE.
Amakulu:
Olugero lutulabula nti si kirungi okubuuliza ku bugenyi, mu ngeri y’okwenyinyala, enva ze baba bakufumbidde, okuggyako nga mwannyoko y’azifumbye.

29.”EMBWA YANGE TEBBA”…
NG’EYISE KU LWA TABA (OLWANIKO).
Amakulu:
Kiba kizibu embwa okuyita ku bintu by’eyagala nga byanikiddwa n’eteryako. N’omubbi bw’atyo, tayinza kuyita ku bintu by’ayagala n’atabibba, bwe wataba abikuuma. Olugero lutegeeza nti omubbi tayinza kugaanirwa.

30.”ENDWADDE Y’OMUTO TEKWATA”…
NG’AMUZAALA MUGANZI.
Amakulu:
Omwana w’omuganzi bw’alwala endwadde ekwata, kitaawe tamwegobako naye ow’omukyawe amugamba mangu nti, “Genda ewa nnyoko; ojja kunsiiga obulwadde”.

31.”ENSI EGULA MIRAMBO”…
NGA TEBASSE WUWO.
Amakulu:
Omuntu wo bwe bamuttira mu lutalo toyinza kwogera bw’otyo.

32.”ENSIMBI ZAABULA”…
ASIIBA WAKA.
Amakulu:
Omuntu agamba nti ensimbi zaabula lwaki tazinoonya? Omugayaavu atayagala kukola tayinza kufuna nsimbi.

33.”ENSIMBI ZE NFUNA SIMANYI GYE ZIDDA”…
AWASA BANOBYE.
Amakulu:
Oyo ensimbi z’awa nga bamukutte ne baka abasajja tazijjukira.

34.”EWAFFE ZIRYA NGUGO”…
AKUDDIZA MALIBA.
Amakulu:
Engugo gwe muddo ogulimu omunnyo ogukuza obulungi ente n’embuzi. Omuntu akusaba okumuwa ente oba embuzi azikulundire nga zirya ku ngugo akulaga maliba ng’agamba nti zaafa, songa yalya ndye. Abakumpanya bwe batyo bwe bakola.

35.”EY’EMBUZI SI YA ENTE”…
NG’ALIDDE EKIFI.
Amakulu:
Ennyama y’embuzi teyala ng’ey’ente naye omuntu bw’ayogera atyo aba agamba nti omulala obutagiryako si nsonga kasita nga ye aliddeko. Omuntu atalumirwa banne bw’amala okugabana ku kintu ekitonao tafa ku banne ababa batafunye.

36.”GANAAKALIRA KU NNYAGO”…
TEYEKKAANYA AGAFUMBYE.
Amakulu:
Olunyago luba ku ffumu. Edda abantu baayitanga n’amafumu gaabwe olw’okwerinda. Omuntu ali mu bwangu olwamalanga okulya ng’anaaba mu ngalo, ng’asitula. Bwebaamugambanga nti, “Tolinze na mazzi kukala mu ngalo!” ng’addamu nti, “Ganaakalira ku nnyago”.Omuntu agenda amangu bw’atyo teyasobolanga kwetegereza bakyala abaabanga bamufumbidde emmere.

37.”GUNSINZE”…
ALIWA BITONO.
Amakulu:
Omuntu bw’azza omusango ne yeetonda ayinza okusonyiyibwa oba okuweesebwa engassi entonotono.

38.”KA MBUUKIRE BAABA W’ABUUKIDDE”…
KWE KUGWA MU NTUBIRO.
Amakulu:
Omuntu tasaana kugoberera bugoberezi omulala ky’akola. Asaana amale okulaba nga tekiimuviiremu kabi.

39.”KA NDUVE KU NTONO”…
NG’OMUYALA ASANZE WE BAFUMBA.
Amakulu:
Omuyala bw’asanga we bafumba asimbula embooze enyuma, emmere esobole okuggya nga baanyumiza tebannamutamwa.

40.”KALIBA KASAJJA”…
AKULIISA ENGO.
Amakulu:
Okuwaanawaana omuntu kuyinza okumukozesa ebintu ne bimuviiramu akabi.

41.”KANGE”…
KAKIRA “KAFFE”.
Amakulu:
Ekintu omuntu ky’alinako obwannannyini kimwesiimisa okusinga ekya lukale.

42.”KAWUMMUNTA” OKW’ENJALA…
OKW’EKYENGERA ABA “MULAMBUZI”.
Amakulu:
Mu njala abantu abamu tebaagala kukyalirwa. Abakyalira bamwogerako nti “Awummunta”. Bw’abakyalira mu kyengera bamwagala ne bamutenda obulungi olw’okubalambula.

43.”KIFUNDIKWA KIRINSABIRA”…
TAFUNA BWAMI.
Amakulu:
Omuntu eyasuubiranga nti Kabaka alimuyiiyiza obwami olw’okusumika obulungi teyabufunanga. Obwami baasabanga busabe.

44.”KIGGWEESO”…
NGA NE GW’AYAGALA MW’AGENDEDDE.
Amakulu:
Mukwano gw’omuntu bw’agenda mu kifo kyonna okwesanyusa, munne n’atasobola kugenda naye, oyo asigadde awulira ennaku, kyava ayogera ebigambo ebyo asobole okuwummulizaawo ebirowoozo bye.

45.”KIRI MULAALA”…
TEYEEGULIRA NGABO.
Amakulu:
Engabo ky’ekyokulwanyisa buli musajja kye yabeeranga nakyo olw’okwekuuma. Omugayaavu bwe waabangawo emirembe nga tagigula. Abatamanyi kwerinda weebali bangi ne kaakano.

46. “KIRIBA EDDA”…
MMESE YA MU MUTALA.
Amakulu:
Emmese y’omu mutala erwawo okulya ku mmere gye baba basimbyemu naye oluvannyuma egituukako. Ate omukazi bw’azaalira omwana mu lusuku, omwana bamutwala mangu mu nnyumba, omwana omulala ne bamuleka nga bamufugise mu kitooke. Naye ekiseera kituuka omwana gwe baatwala mu nnyumba ne bamuzza mu lusuku naye ne bamuziikayo. Oyo naye baamwogerako nti, “Kiriba edda”. Olugero olwo lutulabula obutasekereranga bannaffe nga batuuse mu kabi naffe akatulindiridde, ng’obukadde n’okufa.

47.”KOZA MPOLA TUMALIRIZE”…
NGA MUNDA YANYIIZE DDA.
Amakulu:
Bw’okoza ne munno n’alaba ng’enva ojja kuzimalawo mangu anyiiga. Agenda okukugambako nga takyalina kirala kya kukukolera. Obuntu bulamu bwetaagibwa nnyo bwe tuba nga tulya ne bannaffe oba nga tunywa nabo oba nga tukola nabo ebintu eby’engeri endala.

48.”KUNO KWE KWAFFE”…
TAKULAGA W’ASULA.
Amakulu:
Waliwo abantu abatayagala kumanyibwa gye basula.

49.”KUNO TEKULI KABI”…
YEERABIRA EKIGENYI.
Amakulu:
Abantu ababi bayinza okutuuka buli wantu, n’ensolo enkambwe ziyinza okutuuka gye zitalowoozebwa kubeera, n’olwekyo omuntu asaana okwerabirira wonna w’aba ali.

50.”KUZAALA KULIMU KI?”…
NGA GWE WAZAALA TAKUWULIRA.
Amakulu:
Omwana atawulira oba atayamba bazadde be y’abagambisa nti okuzaala tekulina kye kugasa.

51.”KUZAALA KULUNGI”….NGA GWE WAZAALA AKUWULIRA.
02/19/2013 – 22:45 | Abazadde N’Abaana Baabwe
Amakulu: Omwana awulira era ayamba abazadde be y’abagambisa nti, okuzaala kugasa nnyo.

52.“KWATA N’OWAAYO”….NGA YASIKIRA MUSIKIRE.
02/13/2013 – 17:45 | Okweyagaliza Fekka.
Amakulu: Abantu abamu tebamanya buvunaanyizibwa bwabwe ku bantu be basikira, kyebava batabayisa ng’abantu baabwe ddala.

53.”KYAKULA NDABA”…
ABULWA W’AZAALA.
Amakulu:
Omuntu ayinza okubulwa omwana olw’okunyooma omukazi eyandimumuzaalidde, ng’agamba nti, “Kino ekiwala ekyayenganga ettaka nga nkiraba nkyagala ntya!”

54.”KYE NDIKUWA OLIKWASAAKO EBIRI”…
AKUWA LUMONDE WA BIKUTA.
Amakulu:
Lumonde muzibu okususa n’omukono ogumu. Olwo olugero luli mu kusaaga.

55.”LEKA EGWE AKASANDA”…
NG’ERUMYE MUSAJJA.
Amakulu:
Kirowoozebwa nti omukazi bw’afumba emmere ng’enjala temuluma nnyo, tabuguutana kugijjula mangu. Bba bw’agimusaba kyava amuddamu nti, “Ka emale okujjiira ddala obulungi”.

56.”LINDA KIGGWEEYO”…
AFUMITA MUKIRA.
Amakulu:
Omuyizzi alinda ekisolo okuggwaayo y’afumita omukira. N’ebintu ebirala bye tukola, tusaana okumanya ekiseera ekituufu eky’okubikoleramu.

57.”LUMONDE AWUBIRA”…
NG’ALABYE MWANNYINA.
Amakulu:
Omukazi bw’amala okugamba banne nti talina lumonde mu musiri ate n’asimayo eminwe ng’alabye ku mwannyina assaawo ensonga nti oyo yali tamulabye. Ekyo kitegeeza nti oluganda kintu kikulu nnyo.

58.”MBIJJUKIDDE”…
OMUWUULU ENSWA AZIMALIRA KU KISWA.
Amakulu:
Omuwuulu bw’ajjukira ng’eka talinaayo mukazi gw’azitwalira kwe kuziriira ku kiswa. N’ebintu ebirala abawuulu bwe batyo bwe babyeriira gye baba babisanze ne babimalawo.

59.”MMAALI YATOKOMOKA”…
AGULA MAGI NA NSUWA.
Amakulu:
Ensuwa n’amagi bwe bigwa wansi byatika bubi. Omuntu okufiirwa ensimbi ze mu bintu ebirala ate n’asuubula ensuwa oba amagi ayinza okweyongera okufiirwa.

60.”MUKADDE TASEKA”…
NGA TALABYE AMUNYONYOOGERA.
Amakulu:
Omukadde naye ayinza okusanyuka ng’alabye gw’anyumya naye obulungi
The Lord Bless You.

Advertisements

About ekitibwakyabuganda

Ba Ssebo ne ba Nyabo, Twebaza Abaganda bonna abulumulirwa Obuganda . Era twebaza ne mikwano gya Buganda gyonna wonna wegiri munsi yonna. Omukutu guno gwatandikibwawo nga e’kigendererwa kwe kuyigiriza abantu ebintu ebikwatagana no’Buganda era nokuwanyisiganya ebilowozo nebanaffe abatali Baganda. Abaganda ne mikwano gya Buganda mukozese omukisa guno muwereze ebirowozo byamwe no’bubaka bwona obunaagasa Abaganda na’baana Buganda berizala mu maaso eyo. Obumu ku bubaka obuwerezebwa ku mukutu guno bugyibwa mukuwanyisiganya ebirowozo okubera kumukutu gwa Ugandan’s at Heart (UAH) Forum ogwatandikibwawo Mwami Abbey Kibirige Semuwemba. Era twebaza muzukulu wa Kintu ne Nnambi ono olw’omulimu gwakoledde bana Uganda bonna abali e’bunayira mungeri yo kubagatta mu byempuliziganya no’kutumbula okukolaganira awamu.

One response »

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out / Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out / Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out / Change )

Google+ photo

You are commenting using your Google+ account. Log Out / Change )

Connecting to %s