Ba Ssebo ne ba Nyabo,

Twebaza Abaganda bonna abulumulirwa Obuganda .  Era twebaza ne mikwano gya Buganda gyonna wonna wegiri munsi yonna.  Omukutu guno gwatandikibwawo nga e’kigendererwa kwe kuyigiriza abantu  ebintu  ebikwatagana no’Buganda.  Abaganda ne mikwano gya Buganda mukozese omukisa guno muwereze ebirowozo byamwe no’bubaka bwona obunaagasa Abaganda na’baana Buganda berizala mu maaso eyo. Muwereze obubaka bwe mwagala bubere kumukutu guno nga mukozesa empuliziganya zino wamanga:

ekitibwakyabuganda@googlemail.com or abbeysemuwemba@googlemail.com

Obumu ku bubaka obuwerezebwa ku mukutu guno bugyibwa mukuwanyisiganya ebirowozo okubera kumukutu gwa Ugandan’s at Heart (UAH) Forum ogwatandikibwawo Mwami Abbey Kibirige Semuwemba.  Era twebaza muzukulu wa Kintu ne Nnambi ono olw’omulimu gwakoledde bana Uganda bonna abali e’bunayira mungeri yo kubagatta mu byempuliziganya no’kutumbula okukolaganira awamu.

AWANGALE   SSABASAJJA

bulange-in-mengo1

Mutebi corronation

Mutebi corronation

Buganda National Anthem: http://www.youtube.com/watch?v=zo1q8y3NzOw&feature=related

For more historical photos, watch the slide show below:

This slideshow requires JavaScript.

16 responses »

  1. Twebaza nnyo abo abataddewo omukutu guno tusobole okumanya ebifa ku nnyaffe Buganda twagala nnyo Ssabasajja waffe Kabaka no BUGANDA bwonna okweyongera amaanyi mu lutalo lwokufuna Federo Yaffe tuleme kuddirira mu kusaba ebyaffe nga Abaganda.Awangaale Ssabasajjja Kabaka wa Buganda.
    Nze Muzukulu wa Gabunga e Buwaya.Wano e Cambridge UK.

  2. BUGANDA NATIONAL ANTHEM
    twesiimye nnyo, twesiimye nnyo
    Olwa Buganda yaffe
    Ekitiibwa kya Buganda kyava dda
    Naffe tukikuumenga

    Okuva edda n’edda eryo lyonna
    Eryo eggwanga Buganda
    Nti lyamanyibwa nnyo eggwanga lyaffe
    Okwetoloola ensi yonna

    Abazira ennyo abatusooka
    Baalwana nnyo mu ntalo
    Ne balyagala nnyo eggwanga lyaffe
    Naffe tulyagalenga

    Ffe abaana ba leero ka tulwane
    Okukuza Buganda
    Nga tujjukira nnyo bajjajja baffe
    Baafirira ensi yaffe

    Nze naayimba ntya ne sitenda
    Ssaabasajja Kabaka
    Asaanira afuge Obuganda bwonna
    Naffe nga tumwesiga

    Katonda omulungi ow’ekisa
    Otubeere Mukama
    Otubundugguleko emikisa gyo era
    Bbaffe omukuumenga

  3. Temuturimbaa. Ghuno omukhutu ningwa ba Rwanyakitara bawe. Murimbira bwerere nghu gw’Abaganda. Obwogyerero bwaimwe bweraga ngu bwa Kinyarwanda. Timwonghera kutukhooya. Igushu!

  4. Kiino ekiinto kyame era muyina enkiizo kukyo.Just send messages which will teach people about Buganda instead of being paranoid.

  5. Kindly send me via email “Ekitibwa Kya Buganda” I want to down load it in my phone other than having funny songs that are not of any use to me.NB I like it as my wake up song. Pliz!!!!!!!!

  6. CBS back on Air, to many in Mawokota Amelai Kyambadde is considered a key power broker and thus they have vowed to support her.

  7. Awangaale Ssabasajja. I wish my Kabaka can shake off those individuals who are bent on getting him in trouble in pursuit of their personal interests.
    Otherwise thanks for the job. Cheers.

  8. Okuzimba Obuganda mulimu mukulu era munene nnyo okusinga ne bwe tuyinza okulowooza. Si buli muntu nti abeera n’ebirowoozo ebizimba Obuganda oba Eggwanga ggwe ate olaba n’ebibiina ebitono (clubs and organizations) si buli mmembekedde (member) waabyo nti aba n’ebirowoozo ebizimba ekibiina ekyo. Wadde ne mu maka mwe tubeera era si buli mmembekedde oba omwana oba omuzadde nti aba n’ebirowoozo ebizimba amaka ago.

    Obuganda kitegeeza ggwe nange n’oli n’ono n’abo ffenna awamu naye wabeerawo abajja n’ebirowoozo, obuyiiya, ne talanta ezitali zimu nga ebyo bwe bifuna obusobozi, Obuganda oba Eggwanga lizimbwa. Bajjajjaffe Bakalimagezi ab’edda baagamba nti amamese amangi tegeesimira bunnya. Kituufu ku ludda olumu, ate si kituufu ku ludda olulala. Kebera olabe: Katikkiro ow’Ekitiibwa Charles Peter Mayiga ebirowoozo by’azze nabyo okukunga abaganda n’abantu abalala bonna mu Buganda okulaba nga Bbugwe ne Muzibwaazaalampanga azimbwa, n’okuzza Buganda ku ntikko birowoozo birungi naye ssinga obuganda bwonna tebusitukiddeemu kusonda ttaffaali era ssinga tewabaddeewo balina bukulembeze mu kussa mu nkola ebyo ebyetaagisa, omulanga gwa Katikkiro n’amaanyi ge n’okwagala kwe kwonna byandigudde butaka kubanga tayinza kugukola bw’omu.

    N’olwekyo, okuzimba Obuganda n’okubuzza ku ntikko kyetaaga abantu bangi abalina ebitone oba talanta mu makowe agatali gamu mu biti ebitali bimu. Abantu abo abalina talanta oba ebitone ebitali bimu twetaaga okubanoonya oba nabo bokka okwesowolayo bajje twegatte wamu tuzimbe Obuganda. Okuzzaawo amasiro g’e Kasubi, okuzimba Bbugwe, n’okumaliriza ekizimbe kiri wali ku Bulange e Mmengo ebyo byokka ku bwabyo si kwekuzza Buganda ku ntikko. Nedda. Omulimu ogukolebwa ogw’okuyigiriza abantu abali mu Buganda naddala Abaganda okweggya mu bwavu nsonga nkulu nnyo ddala. Obuganda bwe bugaggawala ng’abantu baamu bagagga, bingi eby’omugaso ebikulaakulanya Obuganda bijja kukolebwa, olwo Obuganda budde ku ntikko. Yo Buganda nga Buganda kino teyinza kukikola ku bwayo yokka awatali balala Bannayuganda n’ensonga endala ezigenderako, okugeza nga Obukuumi (secuirty). Obukuumi bwetaagibwa nnyo bubeerewo nga Uganda ng’Eggwanga lirina obukuumi, obutebenkevu n’emirembe Buganda okusobola okudda ku ntikko. Ate Buganda okudda ku ntikko tekitegeeza nti Uganda nga Eggwanga liba lisigadde mabega, nedda, Liba ligenze mu maaso era okudda kwa Buganda ku Ntikko kugenda kugasa Bannayuganda bonna. Newaakubaadde nga sinnafuna mukisa kusoma kitabo kya Ow’Ek. Katikkiro C.P. Mayiga kye yatuuka Buganda ku Ntikko, naye ndowooza nti ebirowoozo bye ekyo kye njogedde waggulu bikitwaliramu,

    Ebimu ku bintu nze bye nnandirowoozezza awamu ne banywanyi b’Omukago bwetuli e Sseesamirembe tulowooza nti wakati mu bintu ebingi ddala ebyetaagibwa okuzza Buganda ku ntikko, mwe tusanga na bino:

    a) Okusensula mu bantu ne mu bintu ebingi ennyo ebirowoozebwa okuba nti bwe Buwangwa bwa Buganda n’Abaganda nga bwe bigenda bireetebwa abataka n’abantu abatali bamu okulaba nti tulondamu ebyo ebirabika okuba nga ddala ssinga bitambulirwako bigenda kugasa Obuganda n’okukulaakulanya Obwakabaka bwaffe n’okukuuma Kabaka waffe mu mirembe ne mu ddembe ate nga tutambulidde wamu ne Uganda yonna. Ensonga eno nkulu nnyo kubanga bangi nnyo buli avaayo mbu ye amanyi kino, nti nze mmanyi kiri kya buwangwa, kwe kugamba abaavunaanyizibwa ne babulwako kye batwala okuba ekituufu era eky’ennono ddala oba eky’amagezi ag’omulembe mu kukola bye twetaaga.naye twetaaga tukimanye nti bingi ebitwalibwa okuba eby’obuwangwa byasoba dda, byawaba dda ne biva ku nnono n’omulamwa omutuufu era nga bingi mw’ebyo bye tuyita nti bya mikolo gya buwangwa byasobezebwa dda nga tewakyaliwo amanyi kubisensulamu na kubyawula okwekakasa nti kino kituufu era kya mugaso oba nti kikolebwa bwe kiti era lwa nsonga eno oba eri. Amazima go twetaaga okugategeera nti bingi nnyo ate si mu Buganda mwokka byasoba dda ne biva ku nnono entukuvu nga bwe zaabanga edda. Kino tukirabire ku nsonga nti, ku mulembe gwaffe guno wonna mu buli mawanga agalimu Obwakabaka, tewakyaliwo ba “God-Kings” nga bwe baabeerangawo edda nga ensi zikyalimu Obutukuvu. Bakabaka Abatukuvu abaali balina Obuyinza obw’Obwakatonda, abaayitibwa nga Bassebijjaano-Ggolooba, abaasobolanga okweyolekera mu mubiri ogw’ekikomo ogufaanana ng’Enjuba Egolooba nga eyo y’ensonga ebayisa Bassebijjaano-Ggolooba; ku nsi kuno tebakyaliwo, kubanga obwakabaka (leka bubeere obwa Bungereza) ne bakabaka baasobezebwa era kino kirabire ku nsonga nti Bakabaka yonna gye bali mu Bwakabaka ku nsi baasigalawo nga Baamikolo gya Bya Buwangwa tebakyalina buyinza buli bwennyini obw’obwakatonda ate nga ne bwe babadde n’obuyinza obw’ebyobufuzi obuyinza obwo baabwonoona dda nga babukozesa bubi nga n’okutta abantu kwe batadde! Bwe ng’amba obuyinza sitegeeza era soogerera mu buyinza bwa byabufuzi (political powers) nedda. Njogerera era ntegeeza Obuyinza Obw’obutukuvu (Divine Powers) oba obw’Obutangaavu.

    b) Okunoonya Abakugu abamanyi Ebyama eby’Obutukuvu era abaliko Amaanyi n’Obuyinza Obw’Obutukuvu bwennyini (Divine Beings or Divine Spiritual Guardians) Abamanyi-Luyitwe (The Great Knowers or Sages of Divine Wisdom) abasobola okutulambikira Ssaabasajja Kabaka waffe ne bamuzza ku ddaala liri ery’Abali ba “God-Kings” alyoke atukolere omulimu ogutalojjeka tulyoke tulabe Obuganda ne Uganda bwe bidduka ku misinde ate nga tulina obutebenkevu n’obukuumi bwa myaka nkumi na nkumi oba mitwalo na mitwalo.nga tewaliiwo ngozoobana. Kino kyasiinyiizibwako mu katobo Ekkula Kalaame ery’Ekitangaala ky’Obwakabaka mu Mulembe gw’Okukyusibwa Kw’ensi akaawandiikibwa Omutaka w’Olulyo lw’Aba Sserulanda J.K. Mugonza aka Bambi Baaba Baabuwee Omutuukirivu Omulamu aliwo ku mulembe gwaffe guno.

    c) Omutuukirivu Oyo waggulu yawabula nti okuzimbwa kw’Amasiro kwandigendedde wamu nga amasiro ago gateekeddwamu oba nga gasimbiddwamu amaanyi ag’enjawulo okusobola okukuuma amasiro ago nga tegazzeeyo kwokebwa muliro okuyita mu mirembe (millenniums) mingi ddala. Mu kino, bangi abeegamba nti bamanyi emikolo gy’Obwakabaka sso nga kino tebakimanyi wadde nga bo bajja kwegamba nga bwe bagimanyi obulungi naye tebalina bumanyi (wisdom) n’amaanyi okusobola okukuuma Amasiro ago okuyita mu myaka nkumi na nkumi era n’okunywereza ddala Obwakabaka si bwa Buganda bwokka naye n’Obwakabaka obulala, kubanga Obwakabaka obutuufu yonna gye buli, busibuka ku lukoba lumu. Nze nno nteesa nti Ow’ekit. Katikkiro C.P. Mayiga yanditumye abataka oba Abakungu ba Kabaka b’akola nabo ne bagenda basisinkana Omutuukirivu Ono Omulamu ne bamwebuuzaako ebisingawo. Abaagala okumanyako ku kino, bakirabire ku ngeri Great Pyramid ye Misiri (Egypt) gye yazimbwamu nga na buli kati ekyayogeza abantu obwama oba bakirabire ku maanyi na buli kati agakyalemye bannasayansi n’abagezi bonna yonna mu nsi okuzuulira ddala maanyi ki agasangibwa mu Bermuda Triangle era maanyi ga ngeri ki agaliwo. Amaanyi ago gasinziira ku mayinja ag’omuwendo n’engeri gye gaategekebwamu wadde nga kati amayinja nago gabbira wansi mu Ssemayanja Atalantuka (Atlantic Ocean).. Ojja kusanga bangi abagoogerako n’abamu nga bayinza okukutegeeza kiki ekiri mu Bermuda Traingale naye mpaawo ayinza kukuwa ggezi kuggyawo oba kutereeza maanyi ago! Mu bino mulimu ebyama bingi ebitamanyiddwa bantu. Mukama Kitaffe Sseggulumanda yatutumira Omuntu Omutuukirivu Omulamu ajjudde amagezi ag’obumanyi obuteefaananyirizika naye Abafuzi baffe mu biti byonna bakyalemeddwa okumweyambisa okubawa amagezi aganaggya obwaavu mu Africa n’okumalamu entalo n’okuyiwa emisaayi n’okutukulaakulanya mu by’amagezi ga sayansi ne takinoolojje.

    d) Obuwangwa n’Ebyekinnansi byetaaga okuddaabulula nga tuyita mu kubisoggola tubiggyemu ebyawaba, tutegeere amagezi ag’obumanyi obubirimu, tugeeyambise okuzimba Obuganda ne Uganda ne Africa yonna, Olulyo lw’Abantu Abaddugavu ludde ku ntikko mu nsi yonna nga bwe lwabanga edda. Tuddemu tubuyige buto kubanga ebifung’amye mu nfumo, mu ngero, mu ngero ensonge ne mu bikoco ebyo bingi bikusike abaliwo kati tebakyabiggyamu makulu agaabikwekebwamu amakusike era ag’ebyomwoyo. Tuwoza kimu nti ezo ngero..

    e) Sayansi ne takinoolojje (technology) nabyo biyinzika okuzimbwa mu ngeri eyeewuunyisa ensi yonna ssinga tugoberera obuwabuzi n’amagezi agayinza okutuweebwa Abantu Abatangaavu Bammerette Kamerette (The Perfect Enlightened Ones) abliwo ku nsi ku mulembe gwaffe. Batono abakimanyi nti America okutuuka w’etuuse ku nsi kuno, yayambibwako Omutuukirivu omu ayaliwo mu budde obwo ayitibwa Comte de St. Germain, naddala nga yabayamba nnyo mu budde bw’okulangirira Eggwanga Eppya erya United States of America. Ssinga otunuulira engeri ekibuga Washington gye kyazimbibwamu, oyinza okwewuunya magaezi ge baakozesa mu kukuba plan yaakyo, era bw’oba omanyiiko ku byama ebikusike (Esoteric Science) okiraba mangu nti baakozesa amagezi ga njawulo amakusike mu ngeri y’emu nga aba Bannamisiri Bajjajjaffe ab’edda bwe baakola nga bazimba Great Pyramid (Entuumu Kabedwa) nga bagikwanaganya n’amaanyi g’Olubaale lwonna (Cosmic Forces) nga n’okutuusa leero ekyewuunyisa bakagezimunnyo bonna abaliwo ku nsi okuyita mu mirembe emingi n’okutuusa leero.

    Leka tukome wano ku mulundi guno, anti emboozi teba nkadde,

    Rev. Dr. Bhuka Bijumiro-Jjumiro
    bwankandimurasi66195@gmail.com

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out / Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out / Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out / Change )

Google+ photo

You are commenting using your Google+ account. Log Out / Change )

Connecting to %s