Ekiwandiiko The Common Man’s Charter

Standard

Ekiwandiiko The Common Man’s Charter

Akatabo ka The Common Man’s Charter, mu Luganda aba UPC kyebavvuunula nti Okununulibwa kw’omuntu owabulijjo, mu bufuunze kaali kefanaanyirizaako bwe kati:

Kaalimu obuwendo oba ebitundu ebyawuliddwamu 44 nga bikubiddwa ku mpapula 18. Ku lupapula olusooka munda, kwaliko ekifaananyi ky’Obote n’ennyanjula gyeyali awandiise ng’omukulembeze w’ekibiina. Ku lupapula olwokubiri, kwaliko enkola y’ekibiina kya UPC. Olwokuba nti ekibiina kino kye kyali mu buyinza, enkola eno yali eraga nga bwe kyali kyezizza enkiiko za disitulikiti, ez’ebibuga era n’enkolagana eyaliwo wakati w’ensi za East Africa. Wano nno mbu kye kyava kisalawo okuwagira Charter mbu olwo ebyagendererwa mu kwefuga biryoke bissibwe mu nkola nga tugoberera enkola eya Nnaakalyako-ani (Socialism).

Akawendo akokubiri, ku lupapula lwe lumu, Obote yannyonnyola nga UPC bwe kyali kigenda okumalawo okutya kwonna n’oluvannyuma wabeerewo obwenkanya, okwenkanankana, eddembe n’okwesiima eri abaana ba Uganda ab’omu mirembe egiribeerawo nga bayita mu kutambulira ku kkono.

Akawendo akokusatu, Obote yategeeza nga bwe bakkiririza mu nfuga eya Republic (awatali bwakabaka)  era nga kino kyekyali ekinyusi mu kusalawo okutandika okutambulira ku kkono basobole okuziyiza omuntu yenna oba akabiina konna okusajjalaatira ku bantu abalala n’okubafuga bonna oba ekitundu ekimu ekya Uganda, nga bwe gwali mu mirembe ng’Obwakabaka bukyaliwo. Bo aba UPC baali baagala abantu ba Uganda be baba beramulira ebintu byabwe ebibakwatako!

Akawendo akokuna, Obote yategeeza nga ye n’ekibiina kye bwe besammulira ddala mu birowoozo ne mu bikolwa, Uganda oba ekintundu kyayo ekimu okubeera ettwale ly’omuntu omu; okusikira ebifo olw’obuzaale bw’omuntu nga bwe kiri mu b’olulyo olulangira; obwabifekeera oba obunyunyuunsi nabyo nga muziro! Abagwira okujja mu Uganda ne babeera n’ebintu byabwe ebikusike oba okugezaako okuwugula abantu b’ensi eno, ogwo nagwo nga muziro. Ebintu ebikolebwa okuvaamu amagoba agagenda okugasa abantu abatono nga nakyo muziro.

Akawendo akokutaano, Obote yategeeza nga UPC bwetakkiririza mu kitundu ekimu ekya Uganda okwesalako okuva ku Uganda oba yadde Uganda okweyawula ku nsi eziri mu mukago gw’obuvanyubwa bw’Africa (East African Community) okutwalira awamu.

Akawendo akomukaaga kaali kagamba nga bbo aba UPC okuviira ddala ku ntandikwa bwe baali bakkiririza mu buyinza bw’abantu (empowerment of the masses) era nga balagirwa nti buli kintu kyonna ekikolebwa mu Uganda kiba kirina kukolebwa ku lwa bulungi bw’abantu bonna era n’olw’ensonga eyo kye bava bakakasa bino wammanga:

i) Okuzimba Uganda ng’ensi emu erimu abantu bamu, olukiiko lumu ne gavumenti emu nga ya Republic;

ii) Okutaasa obwetwaze bwa Uganda n’okukuuma eddembe n’obutebenkevu wamu n’Entegeka y’obufuzi eya 1967;

iii) Okutereeza ekibiina kya UPC abantu bannansi basobole okubaako kye bakola ku ebyo ebikwata ku nsi yabooffe;

iv) Okulwanira ddala obutassa ngabo mu kugoba Obwavu, Obutamanya, Endwadde (Poverty, Ignorance and Disease) wamu n’obufuzi bw’amatwale obw’obumbula obutakubwa ku mukono n’okusosola okwa langi;

v) Okukulaakulanya eby’enfuna ya Uganda nga gavumenti yeyamba amakampuni gaayo, ebibiina eby’obwegassi, amakampuni g’abantu ge betandikira ku bwabwe, amakolero, abasuubuzi n’abalimi;

vi) Okutaasa buli muntu ali mu Uganda kasita abeeramu mu mateeka, awatali kusosola mu langi, eddiini oba olulyo lwe; asobole okweyagalira mu Uganda;

vii) Okukakasiza ddala nga tewaba muntu yenna munnayuganda aweebwa buyinza obukusike, oba embeera, oba ekitiibwa okusinziira ku buzaale bwe oba olulyo lwe mw’asibuka;

viii) Okulabira ddala nga mpaawo muntu ayinza kwekiika mu maaso g’emigaso gy’eggwanga, oba eddembe ly’omulala;

ix) Okuwagira ebibiina oba amawanga ebirina ebigenderwa oba ebiruubirirwa ebifaanana n’ebya UPC;

x) Okukolanga ebintu ebirala ebiringa ebyo UPC bye kigenderera okukola.

Akawendo akomusanvu kakkaatiriza nga Uganda bwe yamala edda okufuuka Republic okuva ku nfuga eya Federo era n’ey’ensikirano ey’obwakabaka. Obote yaggumiza ng’okulwanirira n’okukuuma obwetwaze bwe bitaali byakukoma, era ng’olutalo luno lwatandika nga 09/10/62. Yagamba nti olunaku olwo kyali kikyamu okulufuula kkome-kkome ng’ekkubo ly’e Bubebbere (end of the road) abantu webagabanira ebintu okusinziira ku ndowooza zaabwe.

Akawendo akomunaana kaali kanyweza ebigendererwa bya UPC okwewala enkola n’endowooza ey’obufuzi bw’amatwale n’okulekera awo okulowoolereza mu mawanga, okusuula ebbala endowooza y’okubeera n’ebintu ebikusike ebitakwatibwako.

Akawendo akomwenda, Obote yasojjasojja abafuzi ab’ensikirano mu lugezigezi bwe yagamba nti yali talaba nsonga yali ebobbesa bantu mitwe ng’ebiseera eby’okwefuga bisembera. Yagamba nti ebintu ebyayogerwangako ennyo nga bino:

a) Uganda bw’erimala okwefuga, tulifuna gavumenti ya ngeri ki?

b) Ani alibeera omutwe gw’eggwanga nga tumaze okwefuga?

Obote yagamba nti ebintu ebyo byazimbulukusibwa nnyo ne bituuka okulabika ng’ebikulu ennyo eri eggwanga. Wano Obote weyagambira nti amagezi ag’okuvvuunuka ebizibu ebyo bwe gaazuuka si ge gaali ag’okulongoosa embera y’omuntu owa bulijjo; naye olw’okuba ng’abo abaali abanyuunyuunsi (abafuzi ab’ensikirano) baali ng’abantu babalina mu ngalo, baalaba ng’okwefuga kyali kijja kuba kya kabi eri ebifo byabwe ebikusike. Awo nno mbu abafuzi bano kwe kusala amagezi ebifo byabwe babifuulire ddala eby’omugaso eri omuntu owa bulijjo, kwe kugamba nti ng’okwogera ku bifo byabwe ebyo nga kitegeeza kugendana n’omutindo gw’omuntu owa bulijjo. Obote mu kawendo kano yagamba nga bwe wataali kubuusabuusa nti ebifo by’abanyuunyuunsi bano byali bitangira omuntu owa bulijjo okwenyigira mu by’obufuzi bwa Uganda eyali yeefuga nga 09/10/62 kubanga abanyuunyuunsi (bakabaka) baayagala okwongera okufuga nga bwe baakolanga edda ng’Omungereza tannajja, ne bataagala omuntu owabulijjo okubaako ky’agamba mu kutereeza embeera ya Uganda eyeefuga. Kyokka kati embeera eyo mbu yali eggyiddwawo era ng’omuntu owabulijjo wa ddembe okwesalirawo ku mbeera ye n’atabeera muddu wa muntu munne. Abantu kati baddembe okwogera kaati kyonna ekibaluma kasita bakikola nga bayita mu mateeka g’ensi agatakolebwa mu nkiiko njawufu, wabula mu lukiiko olumu; National Assembly, abantu mwe balina eddoboozi erimu nga bayita mu babaka baabwe.

Akawendo akekkumi, Obote yagamba nga okufuulibwa kwa Uganda okuba Repabulika bwe kyali kigisembezza okumpi ne ggoolo ey’okwefuga okujjuvu era n’okwetakkuluza ku Bamwanawaani okuva mu 1966. Abantu abo bwe baali nga bakyali mu by’obufuzi n’eby’enfuna bya Uganda, kyali kizibu obutabafaako. Kisaana kimanyibwe nti abantu abalina enkola eya mwanawaani mu by’obufuzi n’eby’enfuna tebalema kusigala mabega mu bintu ebikwata ku nsi yaabwe n’ensi z’ebweru. Kati nno nga tumaze okuggyawo enkola eya mwanawaani mu by’obufuzi n’eby’enfuna tuteekwa okukola ebintu bibiri:

1. Okukkiriza ebifo ebyalimu bamwanawaani ab’edda okuddamu bamwanawaani abapya;

2. Okwewala okuleetawo bamwanawaani abapya abalina endowooza ya mwanawaani.

Akawendo akekkumi n’akamu; Obote yagamba nti okugoberera enkola ya Nnaakalyako ani kwe kutandikawo endowooza y’eby’obufuzi empya n’embeera empya etegeeza nti bannayuganda bonna awamu, ebintu ebikwata ku by’obulungi bwabwe ne ku ddoboozi lyabwe mu gavumenti y’eggwanga lyabwe ne ku bukiiko obulala obw’ebitundu nga byonna babitwala nga bikulu ddala. Enkola ya Nnaakalyako Ani ewakanya enkola eya Mwanawaani.

Akawendo akekkumi n’obubiri; Obote yajjukiza nga mu 1968 ekibiina kya UPC bwe kyayima mu lukiiko lwabwe ne kiyisa ekiteeso ekiggyawo enkola ezimba eggwanga erimu n’enkola ya Mwanawaani okusobola okussaawo enkola eya Repabulika. UPC kyasiima nnyo abakulembeze ba gavumenti olw’okutandikawo enkola empya eyali egenda okukyusa ku by’enfuna n’okuleetawo obwenkanya mu by’obufuzi n’embeera z’abantu ababulijjo. Ekibiina kya UPC kyasalawo abantu n’ebintu bissibwe ku mulimu gw’okuzimba eggwanga era ne kiragira olukiiko lwakyo olwa ttabamiruka (National Council) okwetegereza amakubo n’amagezi ag’okussa ebibiina byonna ebya gavumenti n’ebitali bya gavumenti okukolera awamu ne UPC mu kuzimba eggwanga.

Akawendo akekkumi n’obusatu; Obote yagamba nti baali bakimanyi bulungi nga bwe waaliwo abantu bangi abaali tebamanyi bulungi oba abaali bawubisibwawubisibwa ku mulimu gw’okuzimba eggwanga n’okutegeera obukulu bwagwo. Wano kwe kugamba nti kyali kibakakatako bbo ng’ekibiina okubuulirira abo abaali balimbibwalimbibwa n’okubatangaaza nga bwe kyali kisaanidde ebibiina byonna okukolera awamu n’abantu bonna mu kuweereza eggwanga.

Akawendo akekkumi n’obuna; Obote yagamba nti UPC bwe kiba ne kyekiteekateeka okukola olw’obulungi bw’abantu, kiba kitegeeza Abantu bamu, mu nsi emu, abalina gavumenti emu. Yagamba nti mu myaka omusanvu gye baali bamaze mu kwefuga UPC kyali kifubye nnyo okunnyonnyola nti omuntu okuba ow’ekika gundi, oba akawanga gundi, oba okwogera olulimi gundi, oba okusoma eddiini gundi, tekirina kye kimwongerako. Naye okuba munnayuganda kyo kirina kye kyongerera ddala ku muntu kubanga kimufunyisa byonna byateekwa okufuna n’asobola okukolera ab’ekika kye, akawanga ke, eddiini ye, ekitundu kye by’ateekwa okubakolera kasita biba nga tebiziyizibwa mateeka agayisibwa mu lukiiko lw’eggwanga.

Akawendo akekkumi n’obutaano; Obote yagamba nti mu myaka omusaavu bukya bannayuganda bafuna bwetwaze, UPC yali erabye nga bannayuganda bakwasi b’amateeka era abantu abaagala ennyo abantu b’omu maka gaabwe n’emiriraano ne Uganda yonna awamu okubaamu eddembe. Yayongera n’agamba nti bannayuganda era baali bategeera bulungi nga bwe kyali kisaanidde okugaziya eby’enfuna n’okusitula omulembe ogw’omuntu owabulijjo. Baali beegomba nnyo okusitula embeera z’obulamu bwabwe nga beetabira mu bibiina bya gavumenti era nga babirinamu eddoboozi erimala. Kyokka UPC yali erabyewo akabi akaali mu kirungi ekyo; ab’amawanga ag’ebweru okutulondera abakulembeze n’okweyingiza mu by’obufuzi bwa Uganda ng’ekigendererwa kwe kufunyisa amawanga gaabwe ebirungi kyokka nga beeyambisa bannayuganda okutuuka ku bye baagala. Tekyali mu nkola ya Uganda okugumiikiriza empisa ey’okwonoona ebirowoozo by’abantu n’okubaterebula mu byetaago byabwe.

Akawendo akekkumi nomukaaga; Obote yagamba nti UPC kati kyali kiraba ng’ekimu ku bintu Uganda bye yali eyolekedde okulowoozaako nga bye biseera by’abavubuka eby’omu maaso. Kino okusobola okukifumiitiriza obulungi, omuntu yali asaana okutunuulira omuwendo gw’abavubuka abali mu Yunivasite, amasomero ga ssekendule, aga pulayimale ne mu matendekero agatali gamu kyokka okwo ng’abaana abatudde obutuuzi eka tobagasseeko. Mukutunuulira emiwendo gy’abaana abo omuntu yali asobola okumanya ng’abo be bannayuganda abateekebwateekebwa okwetikka obuvunaanyizibwa obw’okwongera okunyweza obwetwaze bwaffe n’okuggula amakubo amalala agalituusa bannayuganda ku kwefuga kwennyini mu by’enfuna n’embeera z’abantu.

Akawendo akekkumi nomusaanvu; Obote yagamba nti singa abavubuka batendekebwa kukolera mu gavumenti za buwanga bwabwe zokka (wano yali akoona Bwakabaka – Omuwandiisi) e mu nkiiko zaabwe mu mpisa zaabwe; ng’ebintu ebyo byeyambisibwa okwesalaasalamu obutundu n’ebibiina; olwo UPC yandibadde terina ky’eyambye ku mulimu gw’okukyusa Africa era n’abavubuka abo bandibadde tebaweereddwa ekyo ekibagwanira okutunuulira Uganda yonna mu kifo ky’okulowoolereza mu katundu akamu kokka. Uganda yali teyinza kukolera bavubuka baayo ttima lyenkana awo.

Akawendo akekkumi nomunaana; Obote yagamba nti UPC teyalina kulowooza ku bavubuka bokka, naye n’abakulu nabo baali ba muwendo ng’abavubuka. Yagamba nti abakadde n’abajenjebu nabo baali batekwa okulowoozebwako kubanga obuwanga (tribe) bwabwe bwokka ku bwabwo bwali tebukyasobola kubawa byetaago byabwe eby’omulembe guno oba n’okukuuma obulamu bwabwe n’ebintu byabwe oba okubayisa ng’abantu mu nsi yaabwe eyeefuga.

Akawendo akekkumi nomwenda; Obote yagamba nti akiddamu lunye nti olutalo lw’okwefuga terwalwanibwa kawanga kamu era terwali lwa bantu ba ddiini emu. Yagamba nti abafuzi Abangereza baawulira enduulu nga ziva mu nsonda za Uganda zonna. Olutalo terwalwanibwa okuzza ebitundu bya Uganda ebimu mu nnyombo z’obuwanga ez’edda (kirabika wano yali akoona Buganda ku masaza g’e Buyaga ne Bugangaizi – Omuwandiisi) ne mu butatabagana era n’entalo, wabula lwalwanibwa okuleetawo embeera empya abantu ba Uganda bonna mwe bali obumu, mu nsi emu era n’okweddiza ekitiibwa kyabwe bayisibwenga ng’abantu.

Akawendo akaabiri; Obote yagamba nti kyali kimanyiddwa bulungi nti Uganda yali nsi ekyakul era nti mu kukkiriza entegeka ey’enkola ya Nnaakalyako Ani UPC yali esoose kwetegereza nnyo ebintu nga bwe byali mu kiseera ekyo. Yagamba nti emyaka enkaaga mu omwenda (1894 – 1962) egy’enfuga y’abazungu bannayuganda gye baamala nga bayigirizibwa okumanya era n’okunywereza ddala enkola y’ekingereza gyali giviiriddemu abantu baffe okukulira mu ndowooza eyo era nga n’ebikolebwa bikolebwa mu ngeri eyo. Ebintu ebyaleetebwa Abangereza mu bbanga ery’obukuumi bwa Bungereza (British Protectorate), bannayuganda baabitwala nga byebisingira ddala obulungi mu kukulaakulanya eby’obugagga bwaffe ne mu nkolagana n’abantu. Bwe kityo ne kibeera nti mu bufuge ne mu kwefuga abantu baasigala mu mbeera y’obulamu eyaleetebwa abagwira. (Bannange kambuuze, olwo lwaki Obote yali takkiriza Buganda okwetakkuluza ku nfuga ey’ekipooli eyaleetebwa Abangereza? – Muwandiisi)

Akawendo akaabiri mu akamu; Obote yagamba nti UPC yali teyinza kukkiriza mawanga abiri okukulaakulanira mu Uganda; kwe kugamba erimu nga ggagga, liyigirize, ly’Afrika mu ndabika naye nga mu ndowooza ggwira (wano yali ategeeza Baganda – Omuwandiisi); ate eddala nga lye lirimu n’abantu abasingira ddala obungi kyokka lyo nga lyavu era n’okusoma nga terisomyeko. Yagamba nti bo aba UPC baali tebalowooza nti byonna eby’obuwangwa bwaffe obw’eky’Afrika kati bikkirizibwa ng’ebigoberera enkola ya Nnaakalyako Ani (wano yali ku bwakabaka n’empisa z’Abaganda); gamba UPC tekkiriza nti abakulembeze b’obuwanga bandibadde n’ebbeetu okukozesa abantu b’obuwanga obwo byonna bye baagala olw’obulungi bwabwe bo ng’abakulembeze. Obote yayongera okugamba nti mu ngeri y’emu baali tebakkiriza ng’enkola eya Mwanawaani (obwami n’obulangira – omuwandiisi) newandibadde nga enkola eno yali ebadde mu Uganda n’emu Afrika okumala emyaka mingi nnyo yali esaana esigale bwetyo. (Wano Obote yeerabira nti buli ggwanga n’ebyalyo. Ova otya e Lango gye basuusuuta akalo n’ojja e Buganda okubagamba nga amatooke bwe gataliimu? – omuwandiisi). Obote wano kwe kugamba nti Uganda yalina okulondawo ekimu ku bibiri: okusigala ku nkola eyasangibwawo ng’abafuzi b’amatwale bazze era netuyigirizibwa okugoberera eby’abagwira ebitalina musingi gutegeerekeka; oba okugoberera entegeka eya Nnaakalyako Ani egendera ku bintu nga bwe biri mu nsi yaffe. Bbo nga UPC baali basazeewo okugoberera enkola eya Nnaakalyako Ani.

Akawendo akaabiri mu obubiri; Obote yagamba nti bbo aba UPC baali tebakkiriza ekigambo ky’okubaawo akabinja akasoolooba ku balala era n’akabinja ako okukozesa obuyinza bwa Mwanawaani. Obote ne banne era baali bakkiriza nti okuva okuva mu byafaayo byaffe, si ntegeka ya bya njigiriza yaffe yokka ye yagoberera omusingi ogwaliwo nga tetunneefuga naye n’eby’obusuubuzi, n’amakolero n’abantu bennyini abaali mu gavumenti oba ebweru waayo; byonna byagenda biteekawo enjawulo wakati w’abaggagga n’abantu abalala abasinga obungi. Enkola ya Nnaakalyako Ani ye yokka eyali egenda okumalawo enjawulo eyo.

Akawendo akaabiri mu obusatu; Obote yagamba nti baali balabawo engeri bbiri eziyinza okuyamba n’okukuza ekitundu ky’abantu abamu ne baba n’enkizo ku balala:

1. Entegeka y’eby’enjigiriza egenderera okuteekawo abantu abalowooza nti olw’obuyigirize bwabwe bo be bafuga abo abatali bayigirize era n’okubalowoozaako ng’abaweereza baabwe.

2. Abayigirize, ate nga be batono, be basinga okuba n’emikisa egy’okufuna emirimu egy’okwekozesa bokka mu by’obusuubuzi n’eby’amakolero era n’okuweebwa emirimu mu gavumenti n’awalala. Kyokka abantu bano mu kifo ky’okukola kyonna ekisoboka okuyamba abo abataayigirizibwa okusobola okubenkana, badda mu kuyamba ba ηηaanda zaabwe. Enkola eno eviiramu ddala obuteesigwa mu by’emirimu era n’okukozesa obubi obuvunaanyizibwa.

Akawendo akaabiri mu obuna; Obote yagamba nti munnayuganda owabulijjo okukula kw’ensi yali akulowooleza mu kweyongera kufuna nsimbi mu nsawo ye. Ssente ezo ayinza okuba nga yali aziggya mu bibye bye yeekolera oba mu kukozesebwa. Wabula omuntu owabulijjo ky’asinga okulowoozaako ng’ekikulu ye gavumenti okumuteerawo ebintu eby’obwereere ensimbi ze zireme okugenda kw’ebyo bye yeetaga mu bulamu bwe naye zidde mu nsawo ye asobole okwekolera ebibye by’ayagala. Akabi akali mu kino kali nti omuntu oyo yeerabira nti mu kukulaakulanya ensi, gavumenti eba erina ebintu ebirala bisatu by’eteekwa okufaako era nga bye bino:

  1. Okugabanya mu by’enfuna y’eggwanga;
  2. Engeri y’ebintu omuva eby’obugagga;
  3. Okussaawo ebifo ebiyinza okwongera okukuza ensi nga bigoberera enkola eya Nnaakalyako Ani.

Akawendo akaabiri mu obutaano; Obote yajjukiza abantu nga bwe kyali kyeraga olwatu nti ensi okukula, enfuna ya buli muntu ng’obadde ogabanyiriza wamu eby’obugagga byona, eteekwa okuba nga yeeyongeddeko. Kino kisoboka kubaawo ng’eby’enfuna byeyongera nnyo okusinga abantu be nnyini nga bwe beeyongera, n’olw’ekyo gavumenti erina okussa ennyo essira ku kusitula eby’obugagga n’eby’enfuna.

Akawendo akaabiri mu omukaaga; Obote yagamba nti waaliwo akabi akalala akaali mu bitundu ebimu eby’eggwanga okusinga ku binne waabyo mu by’obugagga. Yagamba nti tewaaliwo mu ntegeka ya Uganda ekakasa nti: Eby’obugagga bigabanyizibwa kyenkanyi mu bantu ne mu bitundu byonna ebya Uganda. Singa omuntu yali atunuulidde engeri eby’enfuna gye byali bikulaakulanamu, kyali kyangu okulaba nti singa tewassibwawo ntegeka mu bwangu ddala, mu myaka mitono mu maaso obulamu bw’abantu bangi nnyo bwali bujja kufuukira ddala nnyo olw’eby’enfuna okuba nga tebigabanyiziddwa kyenkanyi mu bantu. Ekintu kino kyali kiyiinza okuvaako okutondebwawo kw’amawanga abiri mu ggwanga:

  1. Eggwanga erya babifeekeera abakolerera bannaabwe;
  2. Eggwanga ery’abaavu abatagambika

Kino singa kiba kituukirira, eby’obufuzi byalibadde bidda mu mikono gy’abagagga era nga gavumenti esigadde kuyamba abaavu mu ngeri ng’abanaku bwe bayambibwa. Kino kyali kiyinza okuviirako abanaku okuvunnamira babifeekeera n’okubeebaza olw’okukkirizibwa okubaweereza.

Akawendo akaabiri mu omusaanvu; Obote yagamba nti okusinziira ng’embeera bwe yali mu ggwanga waali tewali kakiiko kavunaanyizibwa ku kugabanyamu mu bwenkanya eby’obuggagga bw’eggwanga wabula eby’obuggagga by’eggwanga byali bigabanyizibwa nga bigoberera okusinziira ku nfuna y’abantu. Yawa eky’okulabirako nti: Singa abantu bataano ku buli kikumi (5%) obugagga bwabwe buba buweereza ekitundu ekya wakati eky’enfuna y’eggwanga (50% of the Economy), abantu abo abatono baba nga balina obuyinza ku bitundu ataano ku kikumi eby’ebintu ebiva mu buggagga bw’eggwanga. Kale nno olw’obugagga bwabwe obuyitiridde n’amaanyi ge baba balina ku by’enfuna by’ensi, kino kiyinza okubaviirako okukola ebyo bbo bye baagala awatali kulowooza ku muntu owabulijjo; kwe kugeza abantu abo batera okwagala ebintu ebirungi ennyo ebitafunika mu nsi yaabwe, ekintu ekibaviirako okulagiriza ebintu ebyo okuva ebweru w’eggwanga oba okubigula mu nsi yaabwe mwe bikoleddwa naye ku muwendo ogwa waggulu ennyo. Ebintu bwe biba biggyibwa mu nsi ez’ebweru kitegeeza nti bannansi baba balina okukola ennyo okutunda eby’amaguzi mu nsi ez’ebweru okusobola okufuna sente z’ensi ezo zebanaakozesa okugalayo ebintu bye beetaaga. UPC wano kye yava eyagala okuteekawo entegeka eyinza okuziyiza omuze guno oguleetera ensimbi zonna ez’ebweru eggwanga ze lyalifunye ate okusigala mu mawanga ag’ebweru.

Akawendo akaabiri mu omunaana; Obote yagamba nti engabanya y’obugagga yali esaanye okwetegerezebwa mu ngeri endala; gamba ng’okugabanya obugagga omuntu owabulijjo n’abeera nga yasinza ekitundu ekinene, kino kyongera amaanyi mu makolero kubanga omuntu owabulijjo sikyangu okwagala okugula ebintu eby’okwejalabya. Singa enfuna y’abannayuganda eyongera okusituka, kirowoozeka nga bandyongedde okugula ebintu ebikolebwa mu nsi yaabwe.

Akawendo akaabiri mu omwenda; Mu byangungu Obote yannyonnyola omulamwa gw’enfuga ya Nnaakalyako Ani bwatyi:

  1. Ekwata ku by’obufuzi n’eby’obugagga
  2. Aba UPC bakkiriza nti obuyinza bw’eby’obufuzi buteekwa kubeera mu mikono gy’abantu abasingako obungi so si mu gy’abantu abatono;
  3. Eby’obugagga nabyo byandibadde mu mikono gy’abo abasinga obungi

Obote mu kawendo kano yawuunzika ng’agamba nti bo aba UPC baali basaliddewo ddala okugoberera enkola ya Nnaakalyako Ani era n’eby’obufuzi n’eby’obugagga bidde mu mikono gy’abo abasinga obungi.

Akawendo akaasatu; Obote yannyonnyola ng’eby’enfuna bya Uganda bwe byali byesigamye ennyo ku by’obulimi, okupakasa n’ensimbi eziva mu by’amaguzi ebitundibwa ebweru ng’eby’obugagga ebisimibwa mu ttaka, ppamba n’emmwanyi. Yagamba nti UPC kikola butaweera okusobola okulaba nga eby’enfuna by’eggwanga tebyesigama ku busuubuzi bwa bagwira. Enkola eya Nnaakalyako Ani yali egoberera kwongera maanyi mu makolero n’ebibiina by’obwegassi ebya Uganda.

Akawendo akaasatu mu akamu; Obote yannyonnyola ng’ekimu ku byetaagibwa okukulaakulanya eby’enfuna by’eggwanga bwe ziri ensimbi (Capital) kyokka ate era nga kyali kimanyiddwa nti ensi yali teyiinza kwesigama ku nsimbi eziva mu mawanga g’ebweru. Yagamba nti mubumanyirivu bwabwe aba UPC, Uganda yali esobola bulungi okwekuηηaanyiza ensimbi ezaayo ku bwayo nezigimala singa buli munnayuganda yali asobola okubaako ne kye yeerekereza. N’olwekyo bo aba UPC baali basemba wassibwewo entegeka esobozesa ensimbi eziterekeddwa bannayuganda okusobola okukozesebwa obulungi mu kwongera okukulaakulanya eggwanga.

Akawendo akaasatu mu obubiri; Obote yagamba nti UPC yali esemba enkola ey’okwekuηηaanyiza ensimbi essibwe mu nkola n’okutandika n’embala eyaliwo nga buli mukozi afuna omusaala asalibwako akatundu akasuule mu nsawo y’okuyamba abantu mu myaka gyabwe emizibu egy’omumaaso nga batuusizza emyaka gy’obukulu omuntu kw’awummulira (National Social Security Fund – NSSF). UPC era yali esemba embala eyo y’emu okukozesebwa ku buli nsimbi omuntu z’afuna mu ngeri emu oba endala kasita ziba nga zisobola okumanyibwa omuwendo gwazo omutuufu. Ng’oggyeko abakozi ba gavumenti abasalibwako akatundu ku misaala gyabwe, abantu abalala bonna baalinga bakusasulayo buteerevu mu NSSF oba bakama baabwe okuzibasalako zisobole okusasulwa mu ntegeka emu oba endala mu NSSF eyakakasibwa.

Akawendo akaasatu mu obusatu; Obote yagamba nti enkola za bbanka mu kiseera ekyo zaali ziyamba basuubuzi n’ab’amakolero bokka, ng’omuntu owabulijjo omuwejjere tasobola kwewolayo sente. Ate era abawejjere ne bwe bandisobodde okwewolayo, ensimbi zonna kumpi zandiggweredde mu kusasula bbanja. N’olw’ensonga eno, UPC kye yava eraba nga kyali kisaanidde okuteekawo enkola ya bbanka endala eneeyitibwanga Bbanka y’Obwegassi (Co-operative Bank) eneeyambanga abawejjere abali mu bibiina by’obwegassi. Enkola ya bbanka eyo yandibaddemu akatundu akagamba nti omuntu ali mu kibiina ky’obwegassi nga yeewola ensimbi okuva mu bbanka eyo, ekibiina ky’obwegassi mw’ava kinaamuterangawo akabega okusasula ebbanja eryo era ne kikola ne ku by’okusasula byennyini. Akatundu akalala akandibaddemu ke ko akagamba nti obungi bwa sente ezinaawolebwanga omuntu bunaasinziiranga ku ebyo omuntu oyo by’akozeeko.

Akawendo akaasatu mu obuna; Obote yayongera okukkaatiriza ekigambo ky’okwerekereza okusobola okwongera ku by’obugagga bw’ensi munda ne ku by’abagwira.

Akawendo akaasatu mu obutaano; Obote yagamba nga UPC bwe yali esembye okuteekawo enkola ey’okuwaliriza abantu okutereka ensimbi mu ngeri ezitali zimu mu bbanka era n’okussaawo bbanka z’Obwegassi.

Akawendo akaasatu mu omukaaga; Obote yagamba nti ku ky’okwongera ku by’obugagga obuleetebwa abagwira kyali kimanyiddwa nti abagwira abo baagalawo obweyamo ku bintu byabwe bya baleeta mu  nsi; kale UPC yali ekozeewo etteeka erikuuma eby’obugagga bw’abagwira okusobola okubasikiriza okuleeta mu nsi yattu eby’obugagga byabwe.

Akawendo akaasatu mu omusaanvu; Obote yagamba nga bwe baali bakozeewo entegeka eby’obugagga ebiva ebweru byongere ku bugagga bw’ensi. Etteeka eryo lyali liyitibwa Foreign Investment Protection Act.

Akawendo akaasatu mu omunaana; Obote yayongera okukakasa ensi nga mu nkola ya Nnaakalyako Ani ekinaagobererwanga mu kukulaakulanya ensi kwe kulaba eng’engeri ey’okukola ebintu n’okubibunya mu bantu nga biri mu mikono gy’abantu awamu. Kino kyali kisobola okuwaliriza gavumenti okuwamba obusuubuzi obw’ekinyunyunsi oluvannyuma lw’okusasula engassi.

Akawendo akaasatu mu omwenda; Obote yagamba nga eky’okuwamba eby’obusuubuzi nga gavumenti esasula engassi bwe kyali kyayisibwa edda nga ne mu Ntegeka z’obufuzi ebbiri (1962, 1967) kali mwekali. Bwe kityo kino kyali kitegeeza nti tewali musuubuzi mu busuubuuzi bw’ekinyunyusi eyali asaanye okulowooza nti gavumenti yali teyinza kweddiza oba emu ku makampuni ag’engeri eyo oba amakampuni gonna ag’engeri eyo, ettaka oba ebintu ebirala byonna ebivaamu eby’obugagga buli lwe kiba kyetaagisa olw’obulungi bw’abantu bonna.

Akawendo ak’amakumi ana; Obote yassa essira ku kutekebwawo n’okuddukanya kw’ebifo abantu mwe baali bayinza okuyigirizibwa okw’ekikungo okusobola okukyusa endowooza y’abantu. Okuyigiriza kuno okw’ekikungo kwali kugenderera kuyigiriza abantu okulowoolereza mu kukolera awamu mu kuddukanya ebifo ebikola ku by’enfuna so si mu kulowoolereza mu kwegaggawaza kinn’omu mu ngeri ey’ekinyunyusi.

Akawendo ak’amakumi ana mu akamu; Obote yagamba nga bwe baali basaanye okugoberera Demokulasiya ng’ebirowoozo by’abantu bireetebwa ne byekennenyezebwa.

Akawendo ak’amakumi ana mu obubiri; Obote yagamba ng’okugoberera enkola ya Nnaakalyako Ani bwe kyali kikolera ku kufuga okw’okukubaganya ebirowoozo. Ekiwandiiko kino n’ebirowoozo ebyali biragiddwa mu kyo byali biteekwa okubunyisibwa wonna mu bantu nga biyisibwa ku Ladiyo ne Televizoni mu mawulire.

Akawendo ak’amakumi ana mu obusatu; Obote yagamba nti ekiwandiiko kino okusobola okutuukiriza ebigendererwa kyali kyetaagisa abakulembeze okweweerayo ddala okukituukiriza n’abantu abasinga obungi okukikkiriza n’okukola ennyo.

Akawendo ak’amakumi ana mu obuna; Obote yamaliriza ekiwandiiko kye ng’agamba nti okukkiriza ekiwandiiko kino kyali kiwa omuntu owa bulijjo omukisa okutuukira ddala ku ebyo by’asuubira mu ntuuyo ze era n’obwenkanya mu bulamu.

Ebyo by’ebyali mu kiwandiiko Obote kye yali awandiise era nga ky’ayagala Uganda egoberera, mpozzi n’okwefaananyirizaako akatabo akaali kawandiikiddwa omukulembeze wa China, Mao Ze Dong, akayitibwa Little Red Book. Abakulembeze aba zigavumenti ezajja nga ziyita mu bwegugungo (Revolution) batera okuwandiika ebiwandiiko ebifaananako bwe bityo.

About ekitibwakyabuganda

Ba Ssebo ne ba Nyabo, Twebaza Abaganda bonna abulumulirwa Obuganda . Era twebaza ne mikwano gya Buganda gyonna wonna wegiri munsi yonna. Omukutu guno gwatandikibwawo nga e’kigendererwa kwe kuyigiriza abantu ebintu ebikwatagana no’Buganda era nokuwanyisiganya ebilowozo nebanaffe abatali Baganda. Abaganda ne mikwano gya Buganda mukozese omukisa guno muwereze ebirowozo byamwe no’bubaka bwona obunaagasa Abaganda na’baana Buganda berizala mu maaso eyo. Obumu ku bubaka obuwerezebwa ku mukutu guno bugyibwa mukuwanyisiganya ebirowozo okubera kumukutu gwa Ugandan’s at Heart (UAH) Forum ogwatandikibwawo Mwami Abbey Kibirige Semuwemba. Era twebaza muzukulu wa Kintu ne Nnambi ono olw’omulimu gwakoledde bana Uganda bonna abali e’bunayira mungeri yo kubagatta mu byempuliziganya no’kutumbula okukolaganira awamu.

6 responses »

  1. Red tea china tea sale:da hong pao,oolong tea,jin jun mei,lapsang souchong,red tea,china tea,chinese tea.Wu Yi Shan Tea of High Quality Worldwide Orders are Accepted:china tea

Leave a comment