LUGANDA PROVERBS AND THEIR MEANINGS!

Standard

BYE BAMUGAMBA BY’ATAWONGA
… , NTI “LUBAALE ANZITA”.

Omuntu bw’agaana okukola ebimugambibwa tasaana kwemulugunya ng’atuukiddwako obuzibu.

BW’OVA KU BYANGE
… NG’OGENDA KU WA NGATTO.

Emmandwa ya Muwanga y’eraguza engatto. Omuntu gwe bagamba ebintu nga takkiriza gwe bagamba okugenda ku mmandwa eraguza engatto emumatize.

GW’OYIGlRIZA OKWESA
…, AKUGOBYA NKAAGA.

Nkaaga z’empiki 16 ezaalika we zivudde. Omuntu azigobesa aba amanyl nnyo okwesa. Olugero lutulabula obutannyoomanga bantu be tuyigiriza ebintu kubanga bayinza okubiyiga ne babitusinza.

GW’OTOZINANGA NAYE
…, BW’ASITUKA OKUZINA NGA GGWE OTUULA.

Omuntu ng’oyo ayinza okuzina ng’abuuka n’akulinnya. Olugero lutulabula obuteemanyizanga nnyo bantu be tutamanyi bulungi.

GWE BAAYOGEDDEKO KAMBE KAWAASE
…, TEKAGGWAAKO MASANDA.

Omuntu bwe bamala okumwogerako obubi, erinnya lye liba terikyayinza kulongookera ddala ne liddawo nga bwe Iyali nga tebannamwogerako.

GA LULEEBA
…, GANYWEBWA WA MWOYO.

Amazzi g’oku luleeba ennyonyi zigazannyiramu era gagwamu ebibi bingi, kye gava gatanyweka, okggyako omuntu ow’omwoyo omugumu
KY’OFA TOGABYE
…, WALUMBE Y’AKIGABA.

Omuntu bw’affa nga talaamye, ebintu bye babigabira mu kwabya lumbe Iwe.

KUBENNANYA
… NG’OLUTTA OW’ETTULU.

Okubennanya ky’ekintu ekyangu ennyo. Olumbe olufuula omuntu muzibe bwe lusanga ow’ettulu, luba lusigazza kuziba limu Iyokka, anti ng’eddala Iyafa dda.

KIRYOKYA EMBI
…, KYE KIRYOKYA N’ENNUNGI.

Mu lugero luno, ekigambo ‘kwokya’ kitegeeza ‘kutta’. Amakulu g’olugero ge gana nti olumbe olutta abawejjere Iwe lutta n’ab’ekitiibwa.

KATONO KEEWAZA
… KAKIRA EDDENE EDDWADDE.

Omuntu bw’aba omutono nga mulamu asinga omunene omulwadde.

KASENNYANKU
…, Z’ATYABA ZE ZIMWOKYA.

Ekiwuka ekyo kiba n’obuti obukalu ku mabega. Omuliro bwe gukwata obuti obwo nga nakyo gukyokya. Waliwo abantu bangi abakola ebintu ne bibaviiramu olumbe oba okufa songa ebyo si bye baagenderera mu ku bikola.

EYALI AFUDDE BW’OLEMALA
…, NTI “KATONDA YANKOLERA!”

Omuntu bw’awona obulwadde obw’amaanyi oba ekintu eky’engeri endala, n’alemala, tasaana kunyiigira Katonda nti yakola bubi okumulemaza. Asaana amwebaze olw’okumuwonya okufa.

ESSANYU LYE LYA MULALU
…, BAMUBAJJIRA ENVUBA NG’AZINA.

Envuba gwe muti gwe bassangamu okugulu kw’omulalu aleme kugenda buli wantu. Envuba yalumyanga nnyo okugulu naye omulalu ng’ebyo tabiwulira. Omuntu asanyukira by’atasaanidde kusanyukira y’ayogerwako bw’atyo.

ENNUNGU
… ENKALIRIZE EKISA TEWONA.

Ennungu y’ensalika oba ebbwa wansi w’ekigere. Edda okuwonya ennungu baagikaliriranga ku muliro, omulwadde n’awulira obulumi bungi obw’omuliro. Okuggya mu bantu emize eminene oluusi kyetaagibwa okubabonereza ennyo awatali kubasaasira.

EBIDDAWO TEBYENKANANKANA
…, ENKAAJUMBE TEMALA NJU.

Essubi eriserekululwa ku nju enkadde ye nkaajumbe. Eryo teriyinza kumala nju mpya egyenkana obunene. N’omusika tatera kwenkana mu byonna nyo gw’aba asikidde.

EBIDDAWO TEBYENKANANKANA
…, ENKAAJUMBE TEMALA NJU.

Essubi eriserekululwa ku nju enkadde ye nkaajumbe. Eryo teriyinza kumala nju mpya egyenkana obunene. N’omusika tatera kwenkana mu byonna nyo gw’aba asikidde.

BALUBUULIZA MBAZZI
…, NGA LULI KU MUDDO LUGAAYA.

Bwe baba babuuza embazzi ey’okutta ensolo enfuge, nga yo eri ku muddo erya. N’omuntu bw’atyo, okufa era n’ebibi ebirala emirundi mingi bimutuukako nga tamanyi.

ASIlKA OBULAMU
…, TASSA MUKONO.

Okukuuma obulamu ab’edda baakugeraageranya n’okusiika ebintu, ng’entungo, omuwemba, n’ebirala. Omuntu bw’aba asiika ebintu ebyo tawummuza mukono, bw’aguwummuza nga bisiriira. Obulamu bwaffe nabwo tusaana okubulabirira buli kiseera, tuleme kubwonoona Iwa bugayaavu.

AMAANYI GA NABUGI
…, GAMUKUBYA AKYALI MUTO.
Nabugi gwe gumu ku mituba egivaamu embugo ennungi ennyo, naye bwe gukula tegukomagika, kye bava bagukomaga nga gukyali muto. Abantu abeemanya eryanyi ne bajooga buli muntu batera okuttibwa nga bato.

SSEBUWUFU BWA NGO
…, TEBUYITIBWAMU MBWA.

Embwa teyinza kugenda ng’erondoola engo mw’eyise kubanga egitya. N’omuntu omuzira oba omukambwe bw’atyo bw’atiibwa.

OBUKAAJUMBE
…, ANAABUSEREKA AKEERA.

Essubi ekkade erisereka bwe bukaajumbe. Tebuserekeka; anaabusereka ky’ava asaana okubukeererako. Ebintu ebizibu byetaaga kukola ng’obudde bukyali buweweevu.

EMPERA TEKWATA MAGULLU
…, EKWATA KAMWA.

Omuntu okulayira nti tagenda kutya tekimugaana kudduka ng’obulwa bukuze

AYOGERA KAATI
…, NG’OMUYIZZI AMAZE OKUTEGA.

Abayizzi bwe bamala okutega ne Iwogooma ku kizigo, nga baagala ensolo eddukeko egwe mu bitimba. Olwo baba bogeera nga tebalina kye batya.

AFUUYE ENG’OMBE
…, NGA TALAGAANYE NA BAYZZI.
Bw’ofuuwa eng’ombe nga tolagaanye na bayizzi, bayinza obutajja. Ebintu byonna ebyetaaga abantu abangi, byetaaga kumala kulagaana nabo.

“ABAKULU BALYA BULUNGI”…
Y’AGWA N’OLUSUUBO.
Amakulu:
Omuddu eyeegombanga ennyo okulya ku birungi mukama we by’alyako ye yalinnyanga ku kintu n’awanula olusuubo. Naye olusuubo bwe lwakutukanga ng’agwa nalwo. Mukama we bwe yakimanyanga ng’eyamwalula esiridde. Abaddu abamu beegezanga ne mu bintu bya bakama baabwe ebirala. Kya kabi nnyo omuntu okululunkanira ebitali bibye.

“ABAKULU N’ABAKULU TEBASEERANA MUKUBI”…
NGA SI ZA MUNNYO.
Amakulu:
Olugero lututegeeza nti ebintu ebirungi n’abakulu bayinza okubikaayanira.

“AGAASAAKA GE GATTULA”…
NG’AKUDDAKO MULUNGI.
Amakulu:
Amannyo g’ensaamu esaaka tegafaanana n’ag’ettula. Olubugo bwe baluttuza ensaamu esaaka lufaanana ne lwe baasaaka ne bataluttula. Omuntu bw’aba ne mutoowe amufaanana ate nga mulungi kyava amwenyumirirrizaamu ng’agamba nti, “Ndaba fembi twava mu lubumbiro lumu”.

“AGENDA Y’ALABA”…
OW’EBBUBA TALAGA NAKU.
Amakulu:
Ow’ebbuba tayinza kwesiga mukaze we. Bulijjo amulowooleza kukola bikyamu. Kyava tayagala kumulaga naku z’aliddirako ng’abaddeko gy’agenda. Alowooza nti omukazi obutamanya naku bba z’aliddirako kimugaana okukola ensobi.

“AKATONO OKALYA NE MUNNO”…
BW’AKWATA ENKUKUNYI ANYIGIRA KU KINKUMU.
Amakulu:
Enkukunyi teriibwa, kyava takuwaako, naye ate era kiba kizibu munno okukuwa ku buli kantu k’aliddeko.

“ANI ALIMUMPEERA?”…
AWA WA KIBUNGU.
Amakulu:
Omwana atannamera mannyo y’ayitibwa ow’ekibungu. Nyina bw’alowooza nga tewali alimuwa byakulya n’akkuta nga ye afudde kyava amuwa ebiriibwa ebya buli ngeri ne by’atasobola kuluma oba okugaaya.

“AWALI EDDIBU TEWALUMA”…
NGA SI GWE BALIKUBYE.
Amakulu:
Omuntu tayinza kumanya bulumi obutuuka ku mubiri gwa munne, kyava asobola okwogera bw’atyo.

“BAANA BAZANYE”…
BW’AVAAWO ABAYITA ‘BALANGIRA’.
Amakulu:
Tekiba kyangu omugenyi okukangavvulira abaana mu maka gaabwe nga bamukolerako ekyejo. Bwe wabaawo abagambako, addamu nti, “Abaana mubaleke bazannye”, naye bw’addayo eka n’aboogerako ebibi byonna, ng’abayita na ‘balangira’. Kyandibadde kirungi okutegeeza bannaffe ensobi ze bakola okusinga okubageya.

“BAATWAYA, BAATULEKERA KI!”…
OMUGOGO ALAGA GUMU.
Amakulu:
Abaayi tebatema ttooke limu mu lusuku. Omuntu okwogera bw’atyo aba anoonya kusaasirwa nnyo.

“BADDEREEVA ENSIMBI BAZIYOOLA MU MAKUBO”…
NTI GGWE BAKUKWATA OMUKONO NGA BAYOOLA?
Amakulu:
Enjogera eyo ya kuzannyisa kigambo ‘kuyoola’. Baddereeva ensimbi nabo bakola nkole.

“BAKALE BOOGERE”…
NGA BAMUGAMBYE GW’AYAGALA.
Amakulu:
Omuntu bw’aba ne munne gw’ayagala abantu ne bamwatuukiriza tafaayo nnyo, olw’okwagala kw’aba nakwo.

“BAKIWADDE MUNNANGE”…
BWE BUGGYA.
Amakulu:
Ab’obuggya bwe balaba nga bannaabwe bafunye ebirungi tebasanyuka.

“BAKUGAMBA”…
Y’AKUGAMBA.
Amakulu:
Omuntu ayinza okutya okwatulira munne ebigambo ebinene ebimukwatako, n’ayogera nga yeetooloola bw’atyo.
“BAKUSEERA”…
TAKWAZIKA.
Amakulu:
Okugaana omuntu okugula ekintu ky’ayagala olwokubanga bakiseera, ate nga ggwe tojja kumwazika kikyo, tekiba kirungi.

Best Regards
Paul Ssemaluulu (PhD)
School of Computing and Informatics Technology
Tel 256 702 271957

About ekitibwakyabuganda

Ba Ssebo ne ba Nyabo, Twebaza Abaganda bonna abulumulirwa Obuganda . Era twebaza ne mikwano gya Buganda gyonna wonna wegiri munsi yonna. Omukutu guno gwatandikibwawo nga e’kigendererwa kwe kuyigiriza abantu ebintu ebikwatagana no’Buganda era nokuwanyisiganya ebilowozo nebanaffe abatali Baganda. Abaganda ne mikwano gya Buganda mukozese omukisa guno muwereze ebirowozo byamwe no’bubaka bwona obunaagasa Abaganda na’baana Buganda berizala mu maaso eyo. Obumu ku bubaka obuwerezebwa ku mukutu guno bugyibwa mukuwanyisiganya ebirowozo okubera kumukutu gwa Ugandan’s at Heart (UAH) Forum ogwatandikibwawo Mwami Abbey Kibirige Semuwemba. Era twebaza muzukulu wa Kintu ne Nnambi ono olw’omulimu gwakoledde bana Uganda bonna abali e’bunayira mungeri yo kubagatta mu byempuliziganya no’kutumbula okukolaganira awamu.

16 responses »

  1. Tweyanzizza tweyanzeege.
    Mmanyi nti “ akumalako ebintu” naye mbadde nkyanyumirwa!

  2. Searching the Luganda proverb:. Ne Gwozadde Akukubila engoma nozzina

  3. Mukulu nkwebaza omulimu guno naye nga bee wafuba okuwa amakulu agookungulu, olulala n’agoomunda ogawanga olugero ne lulyoka lutegeerwa obulungi

  4. Engero nzisomye kyoka waliwo olunsesseza lugamba nti “kkoza mpola tumalize nga munda yanyiize dda” kyoka era njagala ennono yolugero gwoyigiriza okwesa akugobya nkaaga. Kale nsaba kunziramu ku ssimu 0780-123,459 eri na ku WhatsApp.
    .

  5. Webaale kusomesa naye njagala ku makulu g’olugero ennindiriza yassa ssemitego.

  6. I need a proverb that says ” ensi kubeelana oba kuyambagana. Ekizibu kyomunene, omutono yaakimala”

  7. Webalee nnyo nnyini ddala .wewawo okumpeere obulamu apapaliza namunungu mu bwakiwanuka

Leave a comment