Luganda proverbs that can get you Inspired(PART 3)

Standard

By Dr.Paul Ssemaluulu
School of Computing and Informatics Technology
Tel 256 702 271957

AKOLA BIKOLEMU…
NG’ATIKKULA AVA EMUGGA.

Amakulu:
Newankubadde ng’oluusi kyetaagibwa okutikkula abeetisse ebizito naye ogwo teguba mulimu ogwenyumirizisa omuntu.

AKOLA BYA MBYONE…
OWOOBUSA BY’AKOLA EWAABWE.
Amakulu:
Olw’obutaba na Musajja amufuga, owoobusa ayisa nga bw’ayagala.

AKUBA OWUWE…
AKUBA AWUMBA ENGALO.

Amakulu:
Omuntu abonereza owuwe amubonereza amusaasira.

AKUDDIRA MU LUYIMBA…
TALUWOOMYA.

Amakulu:
Abantu batera nnyo okukyusakyusa ebigambo ebyogeddwa bannaabwe, ne babyongeramu ne bye batayogedde.

AKUGOBA …
Y’AKUWA AMAGEZI.
Amakulu:
Bw’agamba nti “Ab’emmanga mbaweerezza” nga naawe olabuka, ng’eyo ovaayo, ng’okwata ekkubo eddala. Abantu abamu okugobwa ku mirimu oba mu bifo kubaviiramu ebirungi.

AKUJJUKIZA …
AKIRA AKUVUMA.
Amakulu:
Okutegeeza omuntu ensobi gy’aba akoze kiba kirungi okusinga okumuvuma.

AKUKEERA ENKYA…
BW’ATAKUZINGA MUGGO AKUZINGA BUGENYI.
Amakulu:
Omuntu ow’engeri eyo bw’atajja kulwana aba alina ekirungi ky’akuleetedde.

AKUKEERA ENKYA…
BW’ATAKUVUMA ASUNZA.

Amakulu:
Bw’aba Tazze kuvuma ng’azze kukwebaza.

AKUKYAAYE BW’AWEREKERA AKUBANJA…
TEWEEBAKA.

Amakulu:
Akukyaye ayinza okufukuutirira akubanja okukuwawaabira mu mbuga z’amateeka. Omuntu bw’akyawa omuntu ate ne yeegatta n’omuntu omulala alina ky’amuvunaana gwe bakyaye aba mu kabi.

AKULABAKO AKATONO…
AKIRA ALAGIRIZA.
Amakulu:
Okugenda ewa munno n’omulabako akatono kisinga okumutumira.

AKULIRA MU NDA YA MUNNE…
TABULAKO K’AGGYAMU.
Amakulu:
Abaana batera okubaako ekintu kye bafaananya bannyaabwe.

AKUMMA EBIJANJAALO…
AKUWONYA MBUBU.
Amakulu:
Omuntu bw’akusaba ekintu ekiyinza okumuviiramu omutawaana n’otokimuwa, ayinza okukugeza ku muntu amummye ebijanjaalo. Naye ebyo oluusi abyogeza nsaalwa.

AKUNOONYA AMEEWOLA…
TAKUNOONYA MASASULA.

Amakulu:
Ayagala okwewola ensimbi oba ekintu ekirala afuba nnyo okunoonya gw’ayagala okuzeewolako naye okusasula bwe kutuuka adduka mudduke.

AKUSIGULA…
TAKUGULA.
Amakulu:
Abasajja abasigula abakazi mu maka gaabwe ate nabo oluusi tebabawasa. Waliwo abantu abasendasenda oba abasigula bannaabwe okukola ebitali bituufu naye olugwa mu buzibu nga beddukira.

AKUSINGA …
AKUKUBYA GW’OKUTTE.

Amakulu:
Omuntu akufuga ennyo oba akusinga ennyo amaanyi ayinza okukuggyako omuggo gwo n’agukukubisa.

AKUSUUBIZA …
AKIRA AKUMMA.
Amakulu:
Omuntu omwesigwa bw’asuubiza okugaba oba okukola ekintu kiba kirungi okusinga okugaana.

AKUTEMYAKO OYAGALA WA MBAZZI…
AKUBAGULIZA WA KIGWO?
Amakulu:
Abantu abalabulwa mu bigambo oba mu bikolwa ne batategeera mangu be bagambibwa ebigambo ebyo.

AKUTWALA EKIRO…
OMUSIIMA BUKEDDE.
Amakulu:
Engendo z’ekiro edda abantu tebazaagalanga, naddala abato, naye bwe baatuukanga amangu gye baabanga bagenda nga basanyuka. Ne mu nsangi zino omuntu bw’akukuluusanya n’akutuusa ku birungi, oluvannyuma tolema kumusiima.

AKUVUMA OBUTO…
TASSAAKO MAGUFA.
Amakulu:
Omuntu okumuvuma nti akola bya kito kiba kivumo kinene kuba obuto bukozesa ensobi nnyingi eza buli ngeri.

AKUWA OKUBAAGA…
AKUWA KULYA.
Amakulu:
Gwe batuma okubaaga ensolo amanya nga naye ajja kulyako.

AKUWA OKULYA…
Y’AKUTWALA OMULUKA.
Amakulu:
Abantu baagala nnyo okubeera n’omuntu abawa eby’okulya.

AKUWAANIRIZA OKULINNYA…
BW’OGWA Y’AKUYITA “KADDUWANNEMA”
Amakulu:
Abantu bangi basindika bannaabwe okukola ebintu ebizibu oba eby’akabi ate ne babasekerera nga bibaviiriddemu emitawaana.

AKUWEERA OMWANA…
AKIRA “NAKWAGADDE”.
Amakulu:
Okukolera omwana wa munno obulungi kisinga okumugamba nti, “Nkwagala”.

AKUWEERERA EKIGAMBO…
AKIRA AKUWEERERA ENVUMA.
Amakulu:
Bw’oba n’omusango, omuntu n’akuwa amagezi ag’okuguwoza, n’owoza n’ogusinga, omuntu oyo aba akuyambye okusinga lwe yandikuwadde ensimbi obusimbi ez’okugatta ng’omusango gumaze okukusinga.

AKUYISA ENKYA…
OMUYISA EGGULO.
Amakulu:
Omuntu bw’akusooka okulya obwami oba okufuna ebintu ate ggwe oyinza okulya obwami obukulu okumusinga oba okufuna ebingi ebisinga ku bibye.

AKWANA …
AKIRA AYOMBA.
Amakulu:
Buli muntu asaana okwagalana ne bantu banne nga yeewala okuyomba nabo. Ekyo kye kiyinza okwagaazisa bantu banne okumuyamba ng’atuuse mu bizibu.

AKWATA EMPOLA ATUUKA WALA…
NAWOLOVU ATUUKA KU KIBUGA.
Amakulu:
Omuntu bw’anyiikirira ekintu, ne bwe kiba ekizibu, alwaddaaki n’akiwangula.

AKWATULIRA…
AKIRA AKUGEYA.
Amakulu:
Okubuulira omuntu ekibi ky’akoze kiba kirungi okusinga okumugeya ng’ozze ebbali.

AKYOGERAKO SI Y’AKIYITA…
OMUNAFU TAYITA NJALA KUJJA.
Amakulu:
Okwogera ku bintu ebibi ng’enjala oba obulwadde obw’akabi ennyo si kwe kubireeta.

ALEMBALEMBA NG’OMUKULU ANAASALA KU NJOVU…
NTI, “AWAGWA EKINENE WATUUKIBWA”, NTI, KABAKA BWE YAFA NGA TEWAGENDA?

Amakulu:
Abaganda tebalya njovu. Bw’ettibwa bagendayo kugiraba bulabi. Asobola okugirya naye yeefula mulabi ne yeesalirako mu bubba. Abantu abakulu tebaagala kukola bibi mu lwatu. Bafuba nnyo okubibikkako.

ALIDDE GGI …
KWESUBYA MUWULA
Amakulu:
Buba butamanya, omuntu okwagala okufuna amangu ekitono n’atayagala kugumiikiriza afune ekinene. Olugero luno lutuukira ku baana b’amasomero abeegobesa mu masomero nga banoonya amasanyu. Lutuukira ne ku bantu ababba ababakozesa.

ALIKULIIRA OMWANA …
OMUTERESA TABA.
Amakulu:
Omuntu bw’omuteresa taba n’amunywa oba n’amubuza omanya nga bw’omulekera omwana naye amubuza. Olugero lutegeeza nti omuntu bw’amenya obwesigwa mu kintu ekitono, toyinza kumwesiga mu kinene.

ALIMA NE BBA …
TABA MUNAFU.
Amakulu:
Edda okulima gwali mulimu gwa bakazi. Bwe walabanga olubimbi olunene olulimiddwa omukazi ne bba, ng’olowooza nti omukazi yalulimye. Omuntu akola ne mukama we olwawo okumuvumbula nti munafu oba nti mugayaavu.

ALINA NNYINA OMUTO…
TABULWA KITAAWE.
Amakulu:
Omukazi akyali omuto bw’afiirwa bba nga bamaze okuzaala abaana, omusajja omulala amuwasa naye ayitibwa kitaawe wa bamulekwa.

ALOOPEDDE MUGANZI…
MU KIZIKIZA.
Amakulu:
Bw’oloopera omuganzi mu kizikiza, gw’oloopedde akukongoola bukongoozi nga ne gw’oloopye talina ky’ajja kumukolako.

ALOWOOLEREZA ENKOKO BY’ERYA…
TAGIMALIRIZA TTOOKE.

Amakulu:
Enkoko ezituuka yonna gye zaagala, zirya ebibi bingi ebiyinza okusinduukiriza omuntu emmeeme ng’abirowoozezzako, naddala ng’alya enkoko yennyini. Enkoko okugiwoomerwa, ebyo omuntu tasaana kubirowoozaako ng’agirya. Olugero lutuukira ne ku bintu eby’engeri endala bye tutasaana kulowoozaako, bwe tuba nga twagala okufuna emirembe.

ALYA EBYA MUKAMA WE NGA TASENGUSE …
TABA MUBBI.
Amakulu:
Omuntu bw’alya ekintu ky’omuntu omulala n’atamuddukako taba mubbi. N’omuntu bw’alya ebbanja ku muntu n’atamwewala taba mulyazaamaanyi.
AMAANYI…
TEGAWALA LUGA.
Amakulu:
Oluga lubaako amaggwa ate luba luwanvu nnyo. Okuluwala lwetaaga bwegendereza.

AMAANYI…
GAVA MU KULYA.

Amakulu:
Omuyala taba na maanyi gakola mirimu.

AMAANYI AMATONO…
WAKASANKE EKYOYA ASITULA KYA MU MMANDA.
Amakulu:
Emmanda ky’ekifuba. Ow’amaanyi amatonao tasuubirwa kusitula oba kukola kinene ng’owamaanyi amangi. Ne Wakasanke kyava asitula ekyoya eky’omu kifuba ky’asobola.

AMAANYI AMEEMANYE…
GAMALA EBITA EMBUGA.
Amakulu:
Omuntu bw’akozesa amaanyi gokka nga teyeegendereza ayonoona ebintu bingi.

AMAANYI TEGALYA…
SINGA ENGANGA EMAZE OBUNYONYI.
Amakulu:
Enganga nnyonyi nnene era ya maanyi naye teyiikiriza bunyonyi butono nti ebulye olw’amaanyi gaayo. Omuntu by’ayagala byonna tayinza kubifuna lwa maanyi era kiba kibi nnyo ow’amaanyi okuyiikiriza abanafu n’abaggyako ebyabwe.

AMAASO AMATI…
GALAMUSA NNYINIMU.

Amakulu:
Bannanyini maka be basaana okusooka okulamusa omugenyi. Omugenyi bw’asooka aba akoze nsobi.

AMAASO G’ENJALA…
GATUUKIRA MU LUSUKU.
Amakulu:
Omuyala gy’akyala amaaso agatuusiza mu lusuuku alabe obanga mulimu emmere gy’anaalya. Olugero lukwata ne ku bintu ebirala omuntu by’aba yeetaaga ennyo.

AMABEERE KIREVU…
N’OMUGUMBA AGAMERA.
Amakulu:
Ng’omukazi omugumba bw’abaako amabeere, n’omusajja omuwuulu bw’atyo ayinza okuba n’ekirevu songa talina maka.

AMAGEZI GASALWA LUVANNYUMA…
ENKONGE EMALA KUKUKUBA N’OBUUKA.
Amakulu:
Emirundi mingi omuntu amala kusobya n’alyoka ayiga okwegendereza, songa ekisinga obulungi kwe kwegendereza n’atasobeza ddala.

AMAGEZI MULIRO…
BWE GUZIKIRA OGUGGYA WA MUNNO.
Amakulu:
Bulijjo omuntu asaana okwebuuza amagezi ku banne ng’atuuse ku bizibu.

AMAGEZI NTAKKE…
EKULA Y’EBUUKA.

Amakulu:
Abantu bwe bakula nga n’amagezi gaabwe geeyongera obungi.

AMAGUFA…
TEGAWEEREZEBWA.
Amakulu:
Abantu tebatera kutuma bantu kubavumira bantu balala. Avuma omuntu amwevumira yekka.

AMALA OKUFUNA…
NTI “OLUGGYA LUKALA MBUZI”.
Amakulu:
Okwo kuba nga kuduulira abatalina mbuzi. Si kirungi omuntu amaze okufuna ebingi okuduulira abatabirina.

AMALUMA…
SI NJALA.

Amakulu:
Amaluma tegakozza muntu ng’enjala.

AMALUMA…
TEGEEGOMBYA NJALA.
Amakulu:
Omuntu tayinza kugamba nti okubulwa by’aliira ku mmere abulwa emmere.

AMAMESE AMANGI…
TEGEESIMIRA BUNNYA.

Amakulu:
Abantu abangi batera nnyo okulemwa okwegatta okukola ku bintu eby’okubayamba oba okubaggya mu kabi.

About ekitibwakyabuganda

Ba Ssebo ne ba Nyabo, Twebaza Abaganda bonna abulumulirwa Obuganda . Era twebaza ne mikwano gya Buganda gyonna wonna wegiri munsi yonna. Omukutu guno gwatandikibwawo nga e’kigendererwa kwe kuyigiriza abantu ebintu ebikwatagana no’Buganda era nokuwanyisiganya ebilowozo nebanaffe abatali Baganda. Abaganda ne mikwano gya Buganda mukozese omukisa guno muwereze ebirowozo byamwe no’bubaka bwona obunaagasa Abaganda na’baana Buganda berizala mu maaso eyo. Obumu ku bubaka obuwerezebwa ku mukutu guno bugyibwa mukuwanyisiganya ebirowozo okubera kumukutu gwa Ugandan’s at Heart (UAH) Forum ogwatandikibwawo Mwami Abbey Kibirige Semuwemba. Era twebaza muzukulu wa Kintu ne Nnambi ono olw’omulimu gwakoledde bana Uganda bonna abali e’bunayira mungeri yo kubagatta mu byempuliziganya no’kutumbula okukolaganira awamu.

9 responses »

  1. Nsaba ku mbuliira amakulu g’olugero basuuta kwabwe akulira empya bbiri alirwa ddaaki talireeta obuzibu?

  2. Nsaba kumbuulira amakulu g’olugero ,basuuta kwabwe akulira empya bbiri alirwa ddaaki taleete obuzibu???

  3. Mind spellings. The word is “engero” NOT “engeero”. In Luganda, adding or omitting just one character (sound) changes the meaning of the word greatly eg amaZZi (water) changes to amaZi ( faeces) when you omit one of the” Z “

Leave a comment